TOP

Omukungu wa CAF alambudde ekisaawe kya KCCA FC

Added 29th January 2017

Mu kaweefubewa wa KCCA FC okukyaliza empaka za CAF mu kisaawe kyayo ekya Phillip Omondi Stadium e Lugogo, balambuzza omukungu okuva mu kibiina kya CAF, omutindo gwakyo ne we batuuse ku kukitereeza.

 Omukungu wa CAF Ian McLeod (owokubiriku ddyo) ng'ali n'abakungu ba FUFA ne KCCA FC. Ku kkono Dr.Patrick Ogwel owa FUFA, David Tamale owa KCCA FC nga ku ddyo ye CEO wa FUFA Watson Edgar . (ekif:Silvano Kibuuka)

Omukungu wa CAF Ian McLeod (owokubiriku ddyo) ng'ali n'abakungu ba FUFA ne KCCA FC. Ku kkono Dr.Patrick Ogwel owa FUFA, David Tamale owa KCCA FC nga ku ddyo ye CEO wa FUFA Watson Edgar . (ekif:Silvano Kibuuka)

Ian McLeod oluvudde e Kitende okulambula ekisaawe kya St.  Mary’s Kitende n’agenda okulambula ekya KCCA FC nga kwe baagala okukyaliza ttiimu ya Angola eyitibwa Club De Premireo De Augusto mu mpaka za Champions League ze bagenda okusamba nga February 10.

Omukungu ono yabadde ne Edgar Watson, akulira FUFA wamu n’omumyuka wa Pulezidenti wa FUFA, Dr. Patrick Ogwel avunaanyizibwa ku kutegeka emipiira gya ttiimu eziva ebweru w’eggwanga wamu n’abakungu ba KCCA FC okuli; CEO David Tamale ne Moses Kaddu Sekiti avunaanyizibwa ku bakozi.

Omukungu ono Ian kyamutwalidde essaawe bbiri okulambula ebintu ebirali bimu ku kisaawe kino okuviira ddala mu busenge abasambi bwe babeera, ebiyigo n’ebinaabiro, ofiisi ezitali n’ebirala.

Yalambuziddwa n’emirimu egigenda mu maaso okuzimba emiryango ku kisaawe kino n’ategeezebwa nti mu wiiki emu bijja kuba nga biwedde era n’asaba aba KCCA FC okusigala nga bamuweereza we babaaba batuuse.

Wabula omukungu ono asiimye eky’eddwaliro lya Nagguru okubeera okumpi n’ekisaawe, ssaako amaduuka amalungi agakiriraanye.

Akulira KCCA FC, David Tamale yategeezezza nti basuubira nti ebintu ebisinga ebyetaagisa omukugu wa CAF yabisiimye era n’asuubiza nti mu wiiki emu bajja kuba bamaze okuzimba emiryango n’obusenge awasasulirwa tikiti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...

Pulezidenti Magufuli

Bawakanyizza obuwanguzi bwa...

Mu kiseera kino ng’ensi eri ku bunkenke olwa Corona era nga n’amawanga mangi gakyali mu muggalo, Magufuli yagaana...

Israel etenderezza Museveni...

EGGWANGA lya Israel litenderezza Pulezidenti Museveni olw’okuba omusaale mu kubatabaganya ne Sudan bwe baludde...