TOP

Kitunzi amatidde bassita 3 mu Cranes

Added 31st January 2017

KITUNZI w’omuwuwuttanyi Alex Song, Bernard Collingnon agambye nti yamatidde omutindo abazannyi ba Cranes basatu gwe baayolesezza mu mpaka z’Afrika e Gabon n’agamba nti basobola okuzannyira mu ttiimu ez’amaanyi mu Bulaaya.

 Juuko mu kutendekebwa kwa Cranes e Gabon.

Juuko mu kutendekebwa kwa Cranes e Gabon.

Bya HUSSEIN BUKENYA

KITUNZI w’omuwuwuttanyi Alex Song, Bernard Collingnon agambye nti yamatidde omutindo abazannyi ba Cranes basatu gwe baayolesezza mu mpaka z’Afrika e Gabon n’agamba nti basobola okuzannyira mu ttiimu ez’amaanyi mu Bulaaya.

Collignon, enzaalwa ya Bufalansa nga mu kaseera kano ali Gabon mu mpaka z’Afrika, yagambye nti wadde Cranes yawanduse nga tewanguddeeyo mupiira mu kibinja D, yabadde n’abazannyi abalungi era agenda kwongera okubeetegereza.

Abazannyi bano kuliko; abazibizi Murushid Juuko ne Joseph Ochaya ssaako omuwuwuttanyi Khalid Aucho.

Collingnon, kitunzi amanyiddwa FIFA era y’anoonyeza abazannyi ba Cameroon; Jean Philippe (Mainz) ne Adolphe Teikeu (Sochaux) akatale.

“Cranes mbadde ngigoberera era nalabye nga Juuko, Ochaya ne Aucho ba njawulo era ng’enda kwongera kutunuulira enzannya yaabwe,” Collingnon bwe yategeezezza omukutu gw’amawulire ogwa supersport. com ogw’e South Afrika.

Yayongeddeko nti enzibira ya Juuko kizibu okumuyitako kuba mugumu nnyo ate asoma bulungi omuzannyo.

Yatenderezza amaanyi ga Aucho, entambula ye ssaako okugwa mu mipiira gy’omulabe.

Yawaanye ne Godfrey Walumbi nti yalaze obumanyirivu Cranes bwe yabadde ettunka ne Misiri. “Singa ttiimu eno esigala n’abazannyi baayo bonna okutuusa mu za 2019, egenda kuba ya njawulo nnyo,” Bernard bwe yayongeddeko.

Cranes yateereddwa mu kibinja L omuli; Cape Verde, Lesotho ne Tanzania mu z’okusunsulamu abalizannya ez’Afrika eza 2019 e Cameroon era yaakuggulawo ne Cape Verde ku bugenyi mu June w’omwaka guno.

Mu ngeri y’emu, omuteebi wa Cranes, Yunus Ssentamu yasaliddwaako mu ttiimu ye Ilvs ey’e Finland. Bakama be bamulanga mutindo gwa kibogwe gwe bagamba nti tegusaana kuzannyira mu ttiimu yaabwe.

Ssentamu, yabaddeyo e Gabon ne Cranes kyokka teyazannyiddeyo mupiira gwonna nga Muhammad Shaban amusookamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...