
Omuzannyi wa Express ku
Bya Joseph Zziwa
TTIIMU ya Lweza ento ezze mu biwundu bya Express bw’egitimpudde ggoolo 4-0 mu mpaka za Junior liigi ezisambibwa abali wansi w'emyaka 17.
Express kirabika efuuse kimpe nkyekubire nga omupiira ogwasembyeyo gwe yasambye ne Villa yakubiddwa ggoolo 3-1 era omutendesi n'agumya abawagizi nti essaawa yonna ebintu bigenda kutereera kyokka ne guno Lweza teyagirabizza kunjuba.
Mu kiseera kino Express yeddiridde abasembye mu kibinja ekimanyiddwanga Hatrick ekikulembeddwa Kirinnya Jinja ss.