TOP

Omutindo gwa Vipers guyombezza Mulindwa

Added 13th February 2017

Vipers 0-0 Volcan De Moron NANNYINI Vipers, Lawrence Mulindwa munyiivu n’omutindo ttiimu ye gwe yayolesezza bwe baabadde balemagana (0-0) ne Volcan Club de Moroni ey’e Comoros mu kikopo kya CAF Confederations Cup ku Lwomukaaga.

 Tony Odur (ku kkono) ng'agezaako okuggya omupiira ku muzannyi wa Volcan Club de Moroni ku Lwomukaaga.

Tony Odur (ku kkono) ng'agezaako okuggya omupiira ku muzannyi wa Volcan Club de Moroni ku Lwomukaaga.

Vipers 0-0 Volcan De Moron NANNYINI Vipers, Lawrence Mulindwa munyiivu n’omutindo ttiimu ye gwe yayolesezza bwe baabadde balemagana (0-0) ne Volcan Club de Moroni ey’e Comoros mu kikopo kya CAF Confederations Cup ku Lwomukaaga.

Omupiira guno gwabadde mu kisaawe e Namboole ku Lwomukaaga kyokka omutindo Vipers gwe yayolesezza gwabadde gwa kibogwe nnyo ekyanyiizizza Mulindwa naye eyabaddewo ng’agamba nti atadde ssente nnyingi mu ttiimu era tayinza kukkiriza kuzannyisa ekyejo bwe batyo.

Eggulo, Mulindwa eyabadde tasalikako musale yayise abatendesi Richard Wasswa n’omumyuka we Edward Golola ssaako abazannyi e Kitende n’abakunya ng’ababuuza lwaki baazannye mu ngeri eswaza etyo.

Vipers, erina kuwangulira Volcan Club de Moroni owaayo mu Comoros okuyitawo okwesogga oluzannya oluddako.

Omu ku bazannyi yategeezezza nti, wadde ng’abatendesi baabadde basindise abazannyi bagende bawummule, badde olwaleero, Mulindwa yakigaanyi era abazannyi bonna baabakubidde amasimu bajje mu bwangu era kaabuze kata abasindike mu kutendekebwa.

Ng’oggyeeko okukunya abazannyi, ensonda zaategeezezza nti abatendesi Wasswa ne Golola obwedda tebalina kye banyega nga Mulindwa ababuuza ekyabalemesezza okufuna obuwanguzi ku Lwomukaaga.

Mulindwa yatadde abatendesi ku nninga okulinnyisa omutindo era n’abalagira okuva e Comoros n’obuwanguzi. “Hooo, ndeka n’okundeka omusajja anyoose (atabuse), naye nakitegeereddewo nti ateekwa okuyomba kuba twazannye bubi,” Omuzannyi omu bwe yategeezezza omusasi wa Bukedde.

Omuzannyi ono yayongedde okutegeeza nti, Mulindwa yeebuuzizza nti, “Kale okuwangula kwandigaanyi naye okuzannya obulungi kugaana kutya ku ttiimu eterina byafaayo ng’eno!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....