TOP

Mahaba azziddwa ku bukulembeze bw'eggaali

Added 13th February 2017

Sam Muwonge Mahaba nga ye ssentebe w’ekibiina ky’eggaali z’empaka azziddwa ku ntebe nga tavuganyiziddwa wakati mu kuwakanyizibwa ab'ekiwayi ekimuvuganya.

 Mahaba

Mahaba

Sam Muwonge Mahaba nga ye ssentebe w’ekibiina ky’eggaali z’empaka azziddwa ku ntebe nga tavuganyiziddwa wakati mu kuwakanyizibwa ab'ekiwayi ekimuvuganya.

Okulonda kwabadde ku kirabo ky'emmere ekya 256 Route Restaurant mu maaso ga ofiisi za UOC e Lugogo ku Lwomukaaga.

Baabadde mu ttabamiruka eyeetabiddwaamu kiraabu z’eggaali 39 nga waabaddewo n’abakungu ba NCS ab’akakiiko ak’ekikugu okuli; Zubair Galiwango, Tito Kayigwa ne Medie Bbaale.

Galiwango wabula yalabudde Muwonge okukomya amawaggali mu bukulembeze bwe n’agamba nti NCS tejja kulonzalonza kumumaamula mu ntebe.

“Olina amawaggali. Mmwe ab’akakiiko muyambe Muwonge akolagane bulungi n’abantu ate agatte abavuzi b’eggaali mu ggwanga. Tetujja kukkiriza kibiina kya ggaali kyakubiri mu ggwanga. Mukomye okwekulubeeseza ku bakungu ba UOC nga mulowooza nti be balina obuvunaanyizibwa ku mizannyo mu ggwanga,” Galiwango bwe yakuutidde Muwonge n’abaalondeddwa.

Abalala abaayiseemu nga tebavuganyiziddwa kuliko; omumyuka wa pulezidenti Richard Senninde (abaddeko), omuwandiisi Yusuf Mbaziira ng'abadde omumyuka wa ssaabawandiisi Fred Maiso eyayabulidde ekibiina kya UCA.

Wabula Maiso nga ye ssentebe ow'ekiseera mu kibiina ekyewaggula, yagambye nti okulondebwa kwa Mahaba kufu bwe ffuffululu ffu kuba tebaliiwo mu butuufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...