TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Micho akyalidde Vipers n'abawa amagezi g'okumegga eya Comoros

Micho akyalidde Vipers n'abawa amagezi g'okumegga eya Comoros

Added 16th February 2017

OMUTENDESI wa Cranes, Micho Sredojevic awadde abazannyi ba Vipers obukodyo obunaamegga Volcon Club de Moron eya Comoros bwe banaaba battunka mu gw’okudding’ana mu kikopo kya CAF Confederations Cup ku Lwomukaaga.

 Abazannyi ba Vipers mu kutendekebwa eggulo ku kisaawe e Lugogo. Mu katono ye Micho.

Abazannyi ba Vipers mu kutendekebwa eggulo ku kisaawe e Lugogo. Mu katono ye Micho.

Lwamukaaga mu CAF Confederations Cup:

Club Volcan - Vipers, 9:00

Mu Uganda Cup:

KCCA FC 6-0 Lungujja Galax

Eggulo ku Lwokusatu, Micho yakedde mu kutendekebwa kwa ttiimu eno e Lugogo n’abategeeza nti bwe baba baakuwangula tebalina kuzannyisa kyejo ate bagoberere n’ebiragiro by’abatendesi.

Micho era yabasabye okwerabira ebyaliwo mu mupiira ogwasooka mwe baalemaganidde (0-0) mu kisaawe e Namboole, n’abagamba nti bayingire ekisaawe nga bakimanyi nti okuwangula kye kyabatutte.

“E Comoros embeera y’obudde, n’ekisaawe bigenda kubatawaanya, era okukomawo n’obuwanguzi mulina okussaamu amaanyi mangi nga muyingidde ekisaawe,” Micho bwe yategeezezza, n’abakuutira okwewala okukola ebisobyo wamu n’obutalumba baddiifiri.

Vipers yeetaaga kuwangula oba okulemagana okulimu ggoolo kwonna, okugenda ku luzannya olwokubiri.

Leero ku makya (Lwakuna), ttiimu eno lw’esuubirwa okusitula mu nnyonyi ya Kenya Airways n’ekibinja ky’abantu 28 okuli abazannyi 18 n’abakungu mukaaga.

Omutendesi Richard Wasswa yategeezezza nti mumativu n’omutindo ogwayoleseddwa mu kutendekebwa ne mu mupiira gw’okwegezaamu ne Jinja SS ku Lwokubiri (Vipers yawangudde 1-0), era mugumu nti abazannyi basobola okufuna obuwanguzi.

“Bannayuganda batwesige okukomyawo obuwanguzi kuba tukoze buli kisoboka okutegeka ttiimu, Wasswa bwe yategeezezza.

Abazannyi abagenda kuliko; Ismael Watenga, James Alitho, Nicholas Wadada, Bashir Asiku, Dan Birikwalira, Aggrey Madoi, Halid Lwaliwa, Shafi k Bakaki, Deus Bukenya, Siraje Sentamu, Kizito Keziron, Brian Nkuubi, Moses Waiswa, Alfred Leku, Francis Onekalit, Milton Kariisa, Erisa Sekisambu ne Tony Odur E Lugogo KCCA FC yayongedde okulaga nti ggoolo tezigenda kubazabuwalira kuteeba nga batuuse mu Angola, bwe yakkakkanye ku Lungujja Galax n’egiwuttula ggoolo (6-0) mu Uganda Cup ne yeesogga oluzannya lwa ttiimu 16 .

Derrick Nsibambi yateebye 3, Geoffrey Sserunkuuma 2 ne Tom Masiko n’ateeba ggoolo emu.

Omutendesi Mike Mutebi yagambye nti omupiira guno gukoze kinene okumuyamba okusalawo ku bazannyi banaatwala.

“Ng’enda kwongera okwetegereza enzannya yaabwe mu gw’okwegezaamu ne Proline ku Lwokuna ndyoke nsalewo eky’enkomeredde,” Mutebi bwe yategeezezza.

KCCA FC edding’ana ne De Agosto ku Ssande mu CAF Champions League okusalawo eyeeyongerayo ku luzannya oluddako.

Mu gwasooka KCCA FC yawangula (1-0) nga yeetaaga maliri okuyitawo. Basitula mu kiro kya leero okugenda e Angola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...