TOP

Infantino ajja mu Uganda

Added 18th February 2017

PULEZIDENTI wa FIFA, Gianni Infantino waakugenyiwala mu Uganda ku Lwomukaaga nga February 25 okusisinkana abakulembeze ba FUFA, bateese ku nkulaakulana y’omupiira.

Bya HUSSEIN BUKENYA

Leero mu liigi (ssaawa 10:00);

SC Villa - Lweza e Nakivubo Bright Stars - Soana e Matugga

PULEZIDENTI wa FIFA, Gianni Infantino waakugenyiwala mu Uganda ku Lwomukaaga nga February 25 okusisinkana abakulembeze ba FUFA, bateese ku nkulaakulana y’omupiira.

Infantino, eyasikira Sepp Blatter ku bwapulezidenti bwa FIFA omwaka oguwedde, yakakasizza bw’agenda okujja mu Uganda asisinkane abakulembeze b’omupiira abalung’amye ku ngeri gye balina okukulaakulanyaamu omupiira gutuuke ku ddaala eryegombesa.

“Wiiki ejja nsuubira okukyalako mu Uganda ku nsonga ez’enjawulo omuli engeri gye tuyinza okuzimbamu omupiira n’okwongera ku busobozi bw’abakulembeze baagwo.

Twagala tulabe engeri omupiira gw’Afrika gye guyinza okukulaakulanamu okuva wansi mu baana abato,” Infantino bwe yategeezezza mu kiwandiiko kye yatadde ku mukutu gwa FIFA ogwa fifa.com ng’ekiwandiiko kye kimu kyaweereddwaako n’omukutu gwa FUFA ogwa fufa.com.

Obugenyi bwa Infantino bwakumala ennaku bbiri ng’asuubirwa okusisinkaniramu abakulembeze ba FUFA.

Okusinziira ku mwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein, oluvannyuma lw’akafubo kaabwe ne Infantino, baakutegeeza eggwanga ekinaddako.

Uganda ly’eggwanga Infantino mw’agenda okukomekkereza obugenyi bwe nga yasoose South Afrika, Zimbabwe ne Rwanda.

Pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo ye yasabye Infantino okukyalako mu Uganda bwe baabadde mu lukiiko lwa FIFA e Doha mu Qatar abakulembeze b’omupiira gye baakubaganyirizza ebirowoozo ku ngeri omupiira gye gulina okuddukanyizibwamu.

“Omupiira gwa Uganda tegugenda kusigala kye kimu, okukyaza omuntu omunene nga pulezidenti wa FIFA kissa Uganda ku mwanjo mu nsi ezikulira ku sipiidi.

Nsuubira nti buli Munnayuganda ayagaliza omupiira, agenda kuganyulwa mu kukyala kuno,” Magogo bwe yategeezezza ku mukutu gwe obwa twitter.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...