TOP

Eya Serbia eyogereza Khalid Aucho

Added 21st February 2017

OLUGERO olugamba nti atannafa teyeevuma ggwanga lutuukidde bulungi ku muwuwuttannyi wa Uganda Cranes, Khalid Aucho, ali mu kwogerezeganya ne kiraabu y’ekibinja ekisooka e Serbia oluvannyuma lw’okusalwako Baroka FC eya South Africa.

 Khalid Aucho (ku ddyo) ng'attunka ne Jordan Ayew owa Ghana mu gw'okususnsulamu ogwa World Cup e Tamale, Ghana mu October w'omwaka oguwedde. Aucho ali mu nteeseganya ne kiraabu ya Red Star Belgrade eya Serbia okugyegattako. (STEPHEN MAYAMBA)

Khalid Aucho (ku ddyo) ng'attunka ne Jordan Ayew owa Ghana mu gw'okususnsulamu ogwa World Cup e Tamale, Ghana mu October w'omwaka oguwedde. Aucho ali mu nteeseganya ne kiraabu ya Red Star Belgrade eya Serbia okugyegattako. (STEPHEN MAYAMBA)

Okusinziira ku mukutu gwa KickOff.com ogw'e South Africa, Aucho yatuuse ku nzikiriziganya ne kiraabu ya Red Star Belgrade, ekulembedde ekibinja kyababinywera e Serbia.  

Aucho gye buvuddeko yasaliddwaako kiraabu ya Baroka FC ey’ekibinja ekisooka e South Africa gye yeegattako ku ntandikwa ya sizoni newankubadde nga y’omu ku bazannyi abaasinze okwolesa omutindo omulungi mu ttiimu y’eggwanga ‘The Cranes’ bwe yabadde mu mpaka za AFCON 2017 ezaabadde e Gabon.

Omukutu gwagenze mu maaso ne gutegeeza nti oluvannyuma lw’okufuna ebbaluwa emukkiriza okufuna ttiimu endala, Aucho yatandise okwogerezeganya ne Belgrade era ng’okusinziira ku kitunzi we Ivica Stankovic, Aucho alinze bulinzi kufuna ‘Viza’ okwegatta ku ttiimu eno.

Red Star Belgrade ye kiraabu esinga ebyafaayo mu Serbia nga yawangulako ne ku kikopo kya kiraabu empanguzi mu Bulaaya mu 1991.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...