TOP

Abachina badduukiridde emisinde gya Kabaka

Added 3rd March 2017

KKAMPUNI y'enguudo ey'Abachina eya China Communication Construction Company(CCCC), era nga y'ekola oluguudo olwa 'Entebe Express Highway, ewaddeyo ensimbi obukadde 30 ziyambe mu misinde gy'okwetooloola ebyalo.

 Ding (ku ddyo) ng'akwasa Kayanja ceeke. Ku kkono ye Godfrey Nisiima.

Ding (ku ddyo) ng'akwasa Kayanja ceeke. Ku kkono ye Godfrey Nisiima.

BYA JOSEPH ZZIWA

Emisinde gino egyatuumiddwa 'Entebe Marathon' gyategekeddwa n'ekigendererwa ky'okuyamba abaana abalina obulemu, mu kitundu ky'e Ntebe, nga bayita mu kibiina kya Modesta Foundation.

Akulira CCCC, Ding Jian Ming ye yakwasizza Meeya w'e Ntebe Vincent De Paul Kayanja ceeke, n'ategeeza nti tebakomye ku kuno kwokka, wabula baakugenda mu maaso n'okuyamba Bannayuganda abalala mu ngeri ez'enjawulo.

Omukolo gwabadde mu ofiisi ya Kayanja ku Lwokusatu nga gwetabiddwaako n'atwala Poliisi y'e Ntebe, Godfrey Nisiima. Kkampuni endala ezitaddemu ssente kuliko; ENHAS (Entebe Handling Services), Police, Entebbe Fitness Club, Movit ne Munisiaali y'e Ntebe.

Emisinde gyakubeerawo nga March 19, era gisuubirwa okwetabwamu abantu okuva mu makolero, amagye amatendekero, n'abalala. Gyakuddukirwa mu kiromita 42, 21, 10 ne 10.

Kayanja yategeezezza nti abanaasinga mu mitendera esatu egisooka baakutwalibwa e China, beetabe misinde eginaabeerayo nga April 9.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...