TOP

Ebikonde bindi mu musaayi - Rukundo

Added 4th March 2017

Oluvannyuma lw'okukoma ku munaabo gw'okuwangula omudaali gwa Olympics, nnatandika okuzannya eby'ensimbi era ne tutuuka ku kukkaanya ne kitunzi Nick Elliot okuva e Bungereza eyali anneegombedde mu mpaka zino.

 Rukundo n'abamu ku baana be. Ku ddyo ye Vincent ate ku kkono ye Lynn.

Rukundo n'abamu ku baana be. Ku ddyo ye Vincent ate ku kkono ye Lynn.

OMWAKA oguwedde, Sam 'Rukundo' Ssentamu yalondebwa ku butendesi bwa ttiimu y'eggwanga ey'ebikonde 'Bombers', era ye yatwala Ronald Serugo (Fly) ne Kennedy Katende (L/heavy) mu mizannyo gya Olympics egyali mu Brazil.

FRED KISEKKA yamutuukiridde n'amunyumiza obulamu bwe; Nnazaalibwa mu 1980 ewa Bakuli, nga bazadde bange ye Sam Ssenkatuuka ne Mary Nakabiito.

Ndi mufumbo n'abakyala babiri okuli Nnaalongo Mariam Namirembe ne Nicole Lazzarini enzaalwa y'e Yitale, ng'ono nnamuwasa ndi Sweden ku kyeyo.

Rukundo (ku ddyo) ng'atendeka Kennedy Katende mu mizannyo gya Olympics eyali e Brazil.

 

Emisomo nagitandikira Kasubi C/U kyokka P7 ne ngituulira Kasubi Modern mu 1993.

Bwe nnamaliriza S4 mu 1997 ku Kololo High, ne ng'enda mu Sweden gye nnasomera haaya ku ttendekero lya Folkojskola, era awo we nakoma.

NNYINGIRA EBIKONDE: Omuzannyo guno gwe gwalera jjajjange ne kitange, wabula mu kusooka si kye kintu kye nnali njagala okwesembereza.

Jjajjange David Ssentume yabizannyira mu kiraabu ya Nytil, ate kitange Ssenkatuuka yabizannyira Kololo High mu myaka gy'e 1980.

Nga ndi mu S2 mu 1995, John Munduga eyazannyirako Bombers yanjagaza ebikonde era n'antendekanga.

Mu mwaka gwange ogwokubiri, nnawangula empaka z'amasomero eza 'Novice' mu buzito bwa 'feather' ne mpitibwa ku ttiimu y'eggwanga.

Mu kusunsula kw'abaalina okukiirira eggwanga mu mpaka z'Afrika Zone 5 ezaali e Misiri nnakuba Adam Kassim eyali nnamba emu w'eggwanga ne nfuna omukisa okugendera mu ttiimu eyalimu abazannyi nga Muhammad Kizito, Abdul Tebazaalwa n'abalala.

Nnawangula zaabu ne mpitawo okukiikirira Uganda mu mizannyo gya All Africa Games egyali e South Afrika mu 1999.

Rukundo ne Nicole

 

NG'ENDA MU OLYMPICS: Nnasooka ne nzirayo mu Sweden, wabula ne nkomawo mu 2002 nga nneetegekera okusunsulamu kwa Olympics.

Nnatandika na kukuba Eddy Akoramu mu kuvuganya kw'eyalina okukiikirira eggwanga mu buzito bwa 'Light' ne nneesogga okusunsulamu okwali mu Casablanca ekya Morocco.

Wadde bampangulira ku semi, nakozesa omukisa ogwali gusembayo e Gabrone mu Botswana olwo ne nneesogga Olympics wa 2004 e Greece.

Mu Olympics, nnasooka kukuba Myke Carvalho enzaalwa y'e Brazil ne nzizaako Alex De Jesus ( Puerto Rico) ne ng'enda ku 'quarter' kwe nawandukira, Omurussia Murat Khrachev bwe yankuba.

NNYINGIRA EBYENSIMBI: Oluvannyuma lw'okukoma ku munaabo gw'okuwangula omudaali gwa Olympics, nnatandika okuzannya eby'ensimbi era ne tutuuka ku kukkaanya ne kitunzi Nick Elliot okuva e Bungereza eyali anneegombedde mu mpaka zino.

Emisipi gyonna gye mpagudde ngiwangudde mbeera Sweden. Gino kuliko; ogwa British Masters Title, European Boxing Association gwe nawangula mu 2010, World Boxing Federation Inter Continental Title ne Africa Boxing Union gwe nawangula emirundi ebiri nga nkuba Robert Osiobe mu 2007 n'okugweddiza mu 2010 nga nkuba Peter Oluch okuva e Nigeria.

ENKOLAGANA NE UBF:

Sirina buzibu bwonna na baddukanya bikonde mu ggwanga, wabula njagala bateekewo enkola eneetwala ebikonde mu maaso. Obutakkaanya bwange ne UBF bwa kulemererwa kuyingiza bazannyi baffe mu mpaka za AIBA APB ne WSB ezandibayambye okuzannya ebikonde ebyensimbi.

Nga twakava mu mizannyo gya Olympics, ekibiina ekitwala ebikonde mu nsi yonna (AIBA) kyasaba abatendesi abaaliyo okukwatagana n'ebibiina ebitutwala, tuteekewo akakiiko akanaayamba okuyingiza abakubi bebikonde abaali mu Olympics batandike okuzannya empaka zaabwe eza APB ne WSB.

Zino zaali za kubayamba okufuna ku nsimbi, era twaweebwa nsalessale wa December 31, 2016.

Wabula wadde UBF ngyekubyeko, na buli kati tewanga nsonga lwaki yalemererwa okuwaayo amannya g'abazannyi.

Ekirala, ffe bannannyini ba kiraabu twetaaga obwerufu mu nzirukanya y'emirimu mu UBF kubanga tuwaayo emitwalo 15 ez'obwammemba, 100,000/- eza National Open, ne 70,000/- egy'empaka za Inter-Mediates ne Cardet' kyokka tetulaba bye zikola sso nga n'embalirira yaazo tetugifuna.

Eno y'ensonga lwaki nnafunye obutakkaanya nabo mu ttabamiruka eyaakaggwa.

 

OBUMANYIRIVU:

Abagamba nti sirina bumanyirivu mbasaasira. Ogamba otya omuzannyi atuuseeko ku 'quarter' za Olympics, nti talina bumanyirivu.

Abaana bonna be ntendese kati nabo batendesi; Lawrence Kalyango ne Charles Ssemakula batendesi ba kiraabu omuli; COBAP ne Namungoona wamu ne ttiimu y'eggwanga ey'abavubuka.

Abalala kuliko; Joe Vegas azannya ebyensimbi, Martin Mubiru ne Jolly Katongole abaaleeta emidaali gya Common Wealth mu 2000.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...

Abatuuze nga bali mu lukiiko.

Batabukidde omusamize mu lu...

ABATUUZE b’e Jjokolera mu ggombolola y’e Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso balumirizza omusamize okubateega n’abawamba...