TOP

'Ssaagala batamiivu mu ttiimu yange'

Added 8th March 2017

NNANNYINI ttiimu ya Soana FC, Smart Obede, awadde Alex Isabirye amateeka amakakali, bw’amugambye nti tayagala kumulaba ng’akozesezza ekintu kyonna ekitamiiza, bw’aba waakutendeka ttiimu ye obulungi.

 Isabirye (ku ddyo) ng’ateeka omukono ku ndagaano. Ku kkono ye Obede.

Isabirye (ku ddyo) ng’ateeka omukono ku ndagaano. Ku kkono ye Obede.

Bya HUSSEIN BUKENYA

NNANNYINI ttiimu ya Soana FC, Smart Obede, awadde Alex Isabirye amateeka amakakali, bw’amugambye nti tayagala kumulaba ng’akozesezza ekintu kyonna ekitamiiza, bw’aba waakutendeka ttiimu ye obulungi.

Ku Mmande, Isabirye yayanjuddwa mu Soana ng’asikira George Lutalo eyagobeddwa oluvannyuma lw’okukubwa Vipers 2-0 n’ewanduka mu kikopo kya Uganda Cup.

Isabirye eyabadde takyalina ttiimu oluvannyuma lw’okusuulawo omulimu gwa Kirinja Jinja SS, yaweereddwa endagaano ya myaka ebiri.

“Omupiira gwetaaga omuntu asobola okugulowooleza obulungi, ate ekyo okusoboka, obwongo bulina okuba nga bukola bulungi. Njagala ttiimu eno eddemu ewangule emipiira nga bwe yakolanga,” Obede bwe yategeezezza.

Bukya kitundu kya liigi ekyokubiri kitandika, tewangulangayo mupiira gwonna. Isabirye yagambye abadde agoberera ebigenda mu maaso mu Soana era ajja kulwana okutuukiriza ebigendererwa byayo. Abaddeko omutendesi wa URA, BIDCO, Victoria University ne Kirinya Jinja SS.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakristu nga basaba RDC Jjemba (owookubiri ku kkono) ennamba y’essimu ye oluvannyuma lwa Mmisa e Nangabo.

RDC agumizza ab'e Kasangati...

OMUMYUKA wa RDC atwala Kasangati, Nansana ne Makindye Ssaabagabo, Moses Jjemba agumizza abatuuze ku kibbattaka...

Minisita Muyingo n'abamu ku bakulira amasomero. Baali bava mu lukung'aana olumu gye buvuddeko.

Minisitule y'Ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ezzeemu okwekenneenya n’efulumya ebiragiro ebipya ng’abayizi ba P6, S3 ne S5 nga baddayo...

Allan Bukenya ng’alaga ennyama ense.

Kola ebyokulya mu nnyama en...

OSOBOLA okukola ebyokulya eby'enjawulo mu nnyama ense eri ku mutindo n'ogaziya bizinensi y'okuliisa abantu. ...

Emmotoka etadde ebitongole bya Gavumenti mu kaseera akazibu ku ngeri gye yayingira mu ggwanga.

Ebizuuse ku mmotoka ya Bobi...

EMMOTOKA ya Kyagulanyi gye yayanjulidde abawagizi be n'abategeeza nti teyitamu masasi aleese akasattiro mu bitongole...

Akalippagano ku nkulungo y’e Naalya.

▶️ Abakozesa Northern By ...

ABANTU abakozesa oluguudo lwa Northern By Pass balojja akalippagano k'ebidduka akali ku luguudo luno okuva bwe...