TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • FUFA entanza etya emitwalo 50 ku musango gwe simanyi?-Kabonge

FUFA entanza etya emitwalo 50 ku musango gwe simanyi?-Kabonge

Added 8th March 2017

EYALIKO omutendesi wa Onduparaka, Allan Kabonge akukkulumidde FUFA olw’okumutanza ensimbi nga talina musango.

 Kabonge (ku kkono) ng’awa omuzannyi we ebiragiro.

Kabonge (ku kkono) ng’awa omuzannyi we ebiragiro.

Bya MOSES KIGONGO

EYALIKO omutendesi wa Onduparaka, Allan Kabonge akukkulumidde FUFA olw’okumutanza ensimbi nga talina musango.

Kabonge, nga kati etendeka Masavu FC eya Big League, yeegulira erinnya bwe yayamba Onduparaka okwesogga mu liigi ya babinywera n’okugituusa ku fayinolo ya Uganda Cup sizoni ewedde, yatanziddwa emitwalo 50 n’okukaligibwa omupiira gumu bwe yasingisiddwa omusango gw’okuvuma omuwuubi w’akatambaala.

Akakiiko akavunaanyizibwa ku kutegeka empaka za FUFA aka ‘FUFA Competition’s Committee’ akakulirwa Ali Mwebe, kaakizudde nti omusango yaguddiza ku kisaawe kya Recreation Grounds e Masaka, Masavu bwe yali ezannya Snergy FC.

Kati Kabonge tajja kubeera ku layini ku mupiira gwa ttiimu ye ng’ettunka ne Hope Doves e Wankulukuku nga March 18.

“ Ndi munyiivu kuba akakiika kaasalawo nga tekampadde mukisa kwewozaako,” Kabonge bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti ebyasaliddwaawo biringa ebigendererwa okumwonoonera erinnya wamu n’okumugoba ku butendesi kubanga talina bwasala mitwalo 50 ku musaala omutono gw’afuna nti aweeyo engassi.

“Ne ssente z’okweyongerayo okusoma ebbaluwa ya CAF B zikyambuze, olwo we naafunira ez’omutango?” Kabonge bwe yeebuuzizza.

Kyokka Mwebe yategeezezza nti baagendera ku lipoota eyawandiikibwa ddiifiri eyali mu mitambo gy’omupiira gwa Masavu ne Snergy, n’awa Kabonge amagezi nti bw’aba teyamatidde na nsala y’akakiiko, ajulire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...