
Omuportugal Da Costa Duarte ng'awa abazannyi obukodyo. EKIF: STEPHEN MAYAMBA
Vipers eri mu kwetegekera mupiira ne ttiimu ya Platinum Stars okuva e South Africa mu mpaka za CAF Confederations Cup ku Lwomukaaga luno era guno gwe mupiira mw'egenda okuggulirawo ekisaawe kyabwe ekipya ekya St. Mary's stadium, ekisangibwa ku ssomero lya St. Marys e Kitende.
Duarte yaweereddwa endagaano ya myaka esatu era okusinziira ku bigambo bya Lawrence Mulindwa, nnannyini ttiimu eno, Da Costa 47, agenda kumyukibwa Richard Wasswa, abadde atendeka ttiimu eno wamu n’abadde omuyambi we, Edward Golola era nga basuubira Duarte okubayamba ennyo okuzimba ttiimu naddala mu nsonga z'ebyekikugu.