
Golola ng'atendeka Turyanabo.
Turyanabo, yeetegeka kulaga ky'alinawo mu mpaka ezinaabaawo nga April 14 ezituumiddwa 'Golola Kumite' nga zitegekeddwa Golola.
"Nasookera mu bikonde mu 2015 ne nzannyako empaka z'ensi yonna ez'abakazi naye tetwaddamu kufuna mukisa kwe kusalawo okwesogga ensambaggere," Turyanabo bwe yategeezezza n'ayongerako nti; "Kati ndi mu buzito bwa Middle nga njagala kusala kiro ntuuke ku Lightweight nkwatagane ne Patricia Apolot mmukube akitegeere kuba mpulira bamuwaana nnyo."
Turyanabo alina ennwaana bbiri mu nsambaggere nga zombi aziwangudde.
Moses Golola agamba nti ayagala kwagazisa Bannayuganda bonna muzannyo guno era n'abakazi abeegatta ku akademi ye abawa obukodyo obw'enjawulo.
Golola, ategese empaka okuggulawo akademi ye mu butongole era agamba nti abaagazi b'ensambeggere tebasaanye kusubwa mpaka zino kuba naye kennyini agenda kuzeetabamu.