TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Uganda eyungudde ttiimu kabiriti okuvuganya mu za Basketball e Misiri

Uganda eyungudde ttiimu kabiriti okuvuganya mu za Basketball e Misiri

Added 10th March 2017

Uganda egenze kuvuganya mu mpaka za Basketball ez’amawanga agali mu kibinja kya Africa Zone 5 nga zigenda kubumbujjira mu Misiri okutandika ku Ssande.

 Minisita w'emizannyo Charles Bakkabulindi ng'akwasa bakapiteeni ba ttiimu z'eggwanga eza Basketball, Stephen Omony ne Flavia Okecho bbendera y'eggwanga nga bagenda mu mpaka za Africa Zone 5 eziri e Misiri. Baabadde Lugogo ku kitebe kya NCS Mar 9 2017. Ku ddyo be bakungu na NCS Bosco Onyik ne Nicholas Muramagi. (Ekif:Silvano Kibuuka)

Ttiimu z’eggwanga zino okuli eya Silver Bucks (ey’abasajja) wamu ne Lady Gazelles (ey’abakazi) ze zisitudde enkya ya leero okugenda mu mpaka zino mwe bagenda okunoonyeza obuwanguzi okusobola okuvuganya mu mpaka z’Africa yonna ku nkomerero y’omwaka guno.

Gavumenti ng’eyitira mu kibiina kya NCS ewadde ttiimu zombi tikiti 32 ezitwala abazannyi b’abakulembeze ba ttiimu minisita w’emizannyo, Charles Bakkabulindi n’agamba nti ebibiina eby’ewandiisa mu mateeka mu gavumenti bye bigenda okusooka okuganyulwa mu nsimbi eziva mu gavumenti.

Minisita Bakkabulindi y’akwasizza abazannyi bbendera z’eggwanga n’abakuutira okudda n’obuwanguzi ate nti be babaka ba Uganda mu mpaka ezo ezigenda okwetabwamu amawanga amalala okuli Kenya, Somalia, Rwanda, Uganda ne Misiri abategesi.

Uganda ye yawangula empaka zino mu bakyala omwaka oguwedde bwe zaali mu Kampala ate abasajja baakwata kyakubiri.

Omutendesi Mmande Juruni agambye nti beetegekedde omwezi mulamba era basuubira okuvuganya obulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...