
Tamale akulira emirimu mu KCCFC n'gali ne Julius Kabugo maneja wa KCCFC Julius Kabugo
Ku Lwomukaaga e Lugogo
KCCA FC (Uganda) – Mamelodi Sundowns (S. Africa)
KIRABU ya Mamelodi Sundowns yakutuuka mu ggwanga enkya olw’eggulo okwetegekera omupiira gwayo ne KCCA FC mu mpaka za kirabu empanguzi ku lukalu lwa Africa eza CAF Champions League.
Okusinziira ku David Tamale akulira eby’emirimu mu KCCA FC abagenyi babategeezezza nti bakutuuka akawungeezi k’Olwokusatu ku ssaawa 12 n’ekitundu mu ggwanga n’ekibinja ky’abantu 43 okuli abazannyi, abakungu wamu n’abawagizi abasaamusaamu.
Bano baakugenda ku woteeri ya Serena gye bagenda okusuzibwa okutuuka ku Sande lwe basuubira okukyaluka.
Mu gw’Olwomukaaga e Lugogo mu maka gaabwe aga Philip Omondi Stadium, KCCA FC yetaaga kuwangula 1-0 okuyitamu okwesogga oluzannya lw’ebibinja oluvanyuma lw’okukubwa 2-1 mu gw’oluzannya olusooka ogwazannyiddwa e South Africa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.
Zo Tiketi Ziri mu biti bisatu; eza 50,000/-, 20,000/- ne 10,000/- zatandise okutundibwa eggulo ku Mande ku masundiro g’amafuta aga Shell okwetoloola Kampala