TOP

Matia wa Express awera kumalira mu bana abasooka

Added 15th March 2017

OMUTENDESI wa Express FC Matia Lule aweze nga bw'agenda okufiirawo okulaba nga ttiimu ye emalira mu bifo ebina ebisooka mu liigi ya Azam Uganda Premier League sizoni eno.

 Aba Express nga bajaganyiza ggoolo ya Simon Serunkuuma ey'okusatu. Ku kkono ye mutendesi Matia Lule (STEPHEN MAYAMBA)

Aba Express nga bajaganyiza ggoolo ya Simon Serunkuuma ey'okusatu. Ku kkono ye mutendesi Matia Lule (STEPHEN MAYAMBA)

Express FC 4-3 Police FC

Lule bino yabyogedde yaakamala okulaba nga ttiimu ye ekuba Police FC ggoolo 4-3 mu gw’azannyiddwa e Wankulukuku ku Lwokubiri nga March 14, 2016.

Obuwanguzi bwayambye Express FC okuweza obubonero 30 okuva mu mipiira 20 era bw'etyo n'esetuka ekifo kimu okuva mu ky’omusanvu n'edda mu ky’omukaaga nga yaggyewo Proline FC.

Lule yategeezezza nti okuwangula ekikopo kyo mu kaseera kano kizibu nnyo naye ate bakyasobola okumalira mu kifo eky’okumwanjo naddala obutasukka kyakuna.

Express yaakudda mu nsiike nga March 28 bw'eneeba ekyalidde Bright Stars e Mwererwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...