
Abamu ku baddusi ba ttiimu ya Uganda mu kutendekebwa e Kapchorwa gye buvuddeko.
Ttiimu emaze omwezi mulamba ng’etendekebwa e Kapchorwa, era omutendesi Benjamin Longiross alinaagamba nti ejja kuwanirira bendera ya Uganda ng'ekukumba emidaali.
"Tukimanyi nti tugenda kusisinkana abaddusi bakafulu okuva mu nsi yonna, naye tugenda kukozesa akakodyo ka kulumbira wamu okuva lwe basimbula okutuuka ku kaguwa, tulabe nga tuwangula," Longiross bwe yategeezezza, n'agattako nti balina okulaba ng'ebbanga lye bamaze e Kapchorwa teribafa busa.
Uganda erina ttiimu ya siniya ey'abasajja n’abakazi, eza juniya abawala n’abalenzi wamu n'eyokuwanyisiganya obuti.
Zino empaka za mulundi gwa 42 nga mu myaka 10 ze zigenda okusinza abaddusi abangi (557) okuva mu mawanga 60 ne ttiimu okuva mu banoonyi b’obubuddamu.
Moses Kipsiro ye Munnayuganda eyali awanguddeko omudaali ogwa ssekinnoomu (feeza), mu 2009 mu misinde egyali mu kibuga Amman ekya Jordan ku mutendera gwa basiniya.
Uganda ggwanga lyakuna okutegeka emisinde gino mu Afrika oluvannyuma lwa Morocco, Kenya ne South Afrika.
Mu kiseera kye kimu, ttiimu y'abaddusi okuva mu Amerika eyatuuse ku Lwokubiri mu ggwanga, eggulo yatendekeddwa ku kisaawe e Kololo.