TOP

Busiro eyigga ttiimu ewangula ekikopo

Added 29th March 2017

ESSAZA lya Busiro litegese empaka z’amagombolola okusunsulamu ttiimu eneevuganya mu mipiira gy’Amasaza.

 Nsubuga (wakati) ng’annyonnyola olukiiko. Ku ddyo ye Sipiika w’Essaza Gerald Ssenkeezi ate ku kkono ye Eronizero Bubye omuwandiisi wa Ssebwama ow’ekyama.

Nsubuga (wakati) ng’annyonnyola olukiiko. Ku ddyo ye Sipiika w’Essaza Gerald Ssenkeezi ate ku kkono ye Eronizero Bubye omuwandiisi wa Ssebwama ow’ekyama.

Atwala ebyemizannyo mu Ssaza lino, Simon Nsubuga Mujambula, yagambye nti empaka z’ekikopo ky’amagombolola zituumiddwa ‘Ssebwana Cup’, nga kivuganyizibwa ggombolola munaana.

Ggombolola ezigenda okwetaba mu mpaka zino zaawuddwaamu ebibinja bibiri, ekya Mayanja omuli; Mumyuka Wakiso, Mituba II Kakiri, Mituba III, Namayumba ne Mutuba I Masuliita.

Ekibinja ekyokubiri kituumiddwa Nalubaale nga kirimu Ssaabagabo Nsangi, Ssaabaddu Katabi, Ssaabawaali Ssisa ne Musaale Kasanje. Ttiimu eneewangula ekibinja kya Nalubaale ejja kukwatagana n’ewangudde ekya Mayanja ku fayinolo.

Ttiimu zino mwe mugenda okulondebwa abazannyi 25 abanaakola ttiimu y’e Ssaza lya Busiro. Buli ttiimu ya ggombolola erina okusasula 30,000/-.

Emipiira gitandika ku Lwamukaaga (April 1) ku kisaawe ky’e Kasanje, ate fayinolo ezannyibwe enkeera. Ssebwana ye mwami w’essaza lya Busiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paasita Kyazze

Paasita naye ayogedde ku mu...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...

Paasita Ssenyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga atuuzizza...

Ayogedde ku mugenzi nga abadde nabbi ow'obulimba , omukabassanyi w'abakazi era nga waafiiridde abadde awerebye...

Omugenzi Col Shaban Bantariza

Col Bantariza afudde Covid1...

Gavumenti ekakasizza nti omugenzi Col. Shaban Bantariza yafudde kirwadde kya Covid 19.

Akulira emizannyo mu Poliisi, AIGP Andrew Sorowen ng’ayambaza Cheptegei ennyota.

Poliisi eyongedde Cheptegei...

OMUDDUSI Joshua Cheptegei ayongedde okugwa mu bintu, ekitongole kya Poliisi bwe kimulinnyisizza eddaala ne kimuwa...

Abagoberezi ba Paasita Yiga...

Abagoberezi ba Paasita Yiga Mbizzaayo beeyiye ku ddwaaliro e Nsambya okukakasa oba ddala kituufu omutuufu waabwe...