TOP

Massa awummudde okuzannyira Cranes

Added 30th March 2017

GEOFREY Massa, abadde kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ‘The Uganda Cranes’ eyagitwala mu mpaka z’omupiira gwa Africa ez’akamalirizo eza AFCON 2017 oluvannyuma lw’emyaka 39 alangiriridde nga bw'anyuse okuzannyira ttiimu y’eggwanga.

 Geofrey Massa abadde kapiteeni wa Cranes ng'akulembedde ttiimu okufuluma akasengebwe yali egenda okuttunka ne Ghana mu mpaka za AFCON e Gabon. (STEPHEN MAYAMBA)

Massa okusalawo kwe akutegeezezza pulezidenti wa FUFA Moses Magogo mu bbaluwa gyamukwasiza olwaleero ku kitebe kya FUFA e Mengo.

Mu bbaluwa Massa ategeezezza nga bweyenyumiririza ennyo mu bbanga ery’emyaka 12 gyamazze ng’asambira Cranes okusingira ddala okugidduumira mu mpaka za AFCON ezabadde e Gabon ku ntandikwa y’omwaka guno era neyebaza abawagizi abamwagadde mu bbanga lino nabasaba okugenda mu maaso nga bawagira Cranes gyagambye nti esigadde nnungi kubanga abazannyi balesemu abeesiga era abakiririzamu.

Omwogezi wa FUFA Ahmed Hussein yategeezezza nti FUFA egenda kutegekera Massa omupiira ogumusibula mu kitiibwa kye nga kapiteeni wa Cranes n’okumusiima olw’ebirungi byagikoledde era bagende mu maaso okumuyamba okuzimba obulamu bwe mu kuddukanya oba okusoma obutendesi okusinziira ku ki kyanaba asazewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...