TOP

Denis Onyango aweereddwa ekya Kapiteeni wa Cranes

Added 4th April 2017

Denis Onyango aweereddwa ekya Kapiteeni wa Cranes

OMUKWASI wa ggoolo Denis Onyango alondeddwa okusikira Geofrey Massa ku bwakapiteeni bwa Cranes.

Oluvannyuma lw’emyaka 12 ng’agizannyira, Massa eyaduumira Cranes mu mpaka z’omupiira gwa Africa ez’akamalirizo eza AFCON 2017 e Gabon Uganda ze yeetabamu omulundi ogusooka oluvannyuma lw’emyaka 39 yalangiriredde nga bwanyuse okugizannyira mu butongole ku ntandikwa ya wiiki ewedde.

Okusinziira ku bubaka omutendesi wa Cranes Micho Sredojevich bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa ‘Twitter’ ogwa @michocoach, Onyango ng’ogw'ensimbi aguzannyira mu kirabu ya Mamelodi Sundowns omu ku babadde abamyuka ba Massa y'agenda okutandika okudduumira Cranes ng’amyukibwa omuzibizi Hassan Wasswa.

Onyango asuubirwa okutandika emirimu gye mu butongole mu June Cranes bwe neeba ekyalidde Cape Verde mu guggulawo empaka z’okusunsulamu za AFCON 2019 ezigenda okubeera e Cameroon.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...