TOP

KCCA FC esiitaanye okuwangula Bright Stars

Added 5th April 2017

OMUTENDESI wa KCCA FC Mike Mutebi asuubiza nga bw'agenda okukola ennyo mu nnaku ezisigaddeyo okulaba ng'abazannyi be balinnyisa omutindo.

 Mike Mutebi omutendesi wa KCCA FC (ku kkono) ng'ayogera n'abawuwuttannyi; Isaac Kirabira ne Tom Masiko bwe baabadde bazannya Bright Stars gye bakubye 2-1.  (STEPHEN MAYAMBA)

Mike Mutebi omutendesi wa KCCA FC (ku kkono) ng'ayogera n'abawuwuttannyi; Isaac Kirabira ne Tom Masiko bwe baabadde bazannya Bright Stars gye bakubye 2-1. (STEPHEN MAYAMBA)

KCCA FC 2-1 Bright Stars

OMUTENDESI wa KCCA FC Mike Mutebi asuubiza nga bw'agenda okukola ennyo mu nnaku ezisigaddeyo okulaba ng'abazannyi be balinnyisa omutindo.

KCCA FC eggulo yasiitaanye okuwangula Bright Stars ku ggoolo 2-1 mu gwa liigi ogwazannyiddwa e Lugogo ku kisaawe kya Philip Omondi Stadium ku Lwokubiri nga April 4.

Ku Lwomukaaga luno ekyaza kirabu ya El Masry eya Misiri mu mpaka z’olukalu lwa Africa eza CAF Confederations Cup.

Oluvannyuma lw’omupiira Mutebi yategeezezza nti naye teyabadde mumativu n’omutindo abamu ku bazannyi be gwe baayoleseza era n'asuubiza okubakolamu omulimu bagulinnyise.

Agamba nti nga bazannya El Masry, beetaaga okuteebamu waakiri ggoolo okubawa enkizo nga tebannazannya gwa kudding'ana wiiki ejja mu kibuga Port Said e Misiri.

Obuwanguzi bwayambye KCCA FC okukendeeza ku bubonero obuna SC Villa ekulembedde bw'ebadde ebasinga ne kasigala kamu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaawangulwa mu kamyufu ka ...

Baagambye nti abeeyita abawanguzi baapangisa amagye ne gakuba abantu n’okubamalako emirembe mu Budiope East, kyokka...

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....