TOP

Onyango asikidde Massa ku bwa Kapiteeni bwa Cranes

Added 5th April 2017

OMUKWASI wa ggoolo Denis Onyango alondeddwa okusikira Geofrey Massa ku bwakapiteeni bwa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes.

 Dennis Onyango asikidde Massa

Dennis Onyango asikidde Massa

Bya STEPHEN MAYAMBA

OMUKWASI wa ggoolo Denis Onyango alondeddwa okusikira Geofrey Massa ku bwakapiteeni bwa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes.  

Oluvanyuma lw’emyaka 12 ng’agizannyira, Massa eyaduumira Cranes mu mpaka z’omupiira gwa Africa ez’akamalirizo eza AFCON 2017 e Gabon Uganda ze yeetabamu omulundi ogusooka oluvanyuma lw’emyaka 39 yalangiriredde nga bwanyuse okugizannyira mu butongole ku ntandikwa ya wiiki ewedde.  

Massa eyannyuse, emabega ye Onyango bwe baali mu AFCON16 e Gabon

 

Okusinziira ku bubaka omutendesi wa Cranes Micho Sredojevich bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa ‘Twitter’ ogwa @michocoach, Onyango ng’ogwensimbi aguzannyira mu kirabu ya Mamelodi Sundowns eye South Africa mu ku babadde abamyuka ba Massa yagenda okutandika okudduumira Cranes ng’amyukibwa omuzibizi Hassan Wasswa.

Onyango asuubirwa okutandika emirimu gye mu butongole mu June Cranes bweneeba ekyalidde Cape Verde mu gugulawo empaka z’okusunsulamu za AFCON 2019 ezigenda okubeera e Cameroon.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...