TOP

Aba Express FC batandise okuwunyiriza ekikopo

Added 13th April 2017

ABAWAGIZI ba Express FC ‘Mukwano gw’abangi’ batandise okuwunyiriza essanyu ly’okuwangula ekikopo oluvannyuma lw'okwesogga oluzannya lwa Semi fayinolo y’empaka za Uganda Cup.

 Abazannyi ba Express FC nga basanyukira ggoolo ya Allan Kyambadde eyameze  SC Villa wiiki ewedde mu liigi. (STEPHEN MAYAMBA)

Abazannyi ba Express FC nga basanyukira ggoolo ya Allan Kyambadde eyameze SC Villa wiiki ewedde mu liigi. (STEPHEN MAYAMBA)

Express FC yawanduddemu URA FC ku peneti 7-6 oluvannyuma lw’okulemagana ggoolo 1-1 mu mupiira ogwazannyiddwa e Lugazi mu maka ga URA  FC ku Lwokubiri nga April 11.

Matia Lule atendeka Express FC yaweze nti beetegefu okufafaagana ne ttiimu yonna eneekiika mu kubo lyabwe okuwangula ekikopo kino kubanga kyokka kye batunuulidde oluvannyuma lw’emikisa gy’okuwangula liigi okukendera.

Express FC yeegasse ku Sadolin Paints eyaggyeemu Onduparak FC ne Paidha Black Angels ezannyira mu kibinja eky’okubiri ekya FUFA Big League eyaggyeemu Vipers SC eyaziwangula omwaka oguwedde nga bwe balinda anaawangula wakati wa Police FC ne KCCA FC abatannazannya mupiira gwabwe ogw’oluzannya lwa ‘quarter’ fayinolo.

Akakiiko akategeka empaka za FUFA kagamba nti fayinolo yaakuzannyibwa nga May 27 mu disitulikiti y'e Arua.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Katikkiro, Charles Peter Mayiga ng’aliko by’ayogera ne Emmanuel Katongole mu kusabira Kitaka e Lubaga.

Kabaka atenderezza emirimu ...

SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi atenderezza emirimu egikoleddwa Francis Xavier Kitaka eyafa...

Kyagulanyi ne Kibalama lwe baatongoza ekibiina kya NUP.

Bwino omulala ayiise ku bya...

BWINO omulala ayiise ng’abaali bakulira ekibiina kya NUP okuli eyali Pulezidenti waakyo, Moses Nkonge Kibalama...

Bambega ba poliisi bazizza Nuwashaba e Masaka gye yasaliddeko omwana Kyamagero omutwe.

Ssenga Meran Namatovu akwat...

EKITONGOLE ky'amagye ekikessi kikutte omukazi ateeberezebwa okupangisa omuvubuka eyasazeeko omwana omutwe n'agutwala...

Omugenzi Kaweesi

Munnamagye aleese bwino ku ...

MUNNAMAGYE eyadduka ayogedde ebyama ku batta eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi ne Joan Kagezi amagye...