
Munnayuganda Maxime Van Pee (777) ng'attunka ne Bannakenya; Ngugi Waweru (999) ne Shafiq Seki (29). EKIF: NICHOLAS KALYANGO
Uganda 1587
Kenya 532
BANNAYUGANDA bongedde okuliisa Bannakenya enfuufu mu mpaka za ddigi bwe babawanguddeko laawundi esooka ey’empaka z’amawanga agava mu masekkati n’Obuvanjuba bw’Afrika, ezaabadde e Busiika ku wiikendi.
Obuwanguzi buwadde Uganda essuubi nti egenda kuddamu esitukire mu ngule eno gye yatwala omwaka oguwedde.
Kapiteeni wa Uganda, Maxime Van Pee, eyaddumidde ekibinja ky’abavuzi 34, yategeezezza ng’okukolera awamu bwe kubayambye ennyo okufuna obuwanguzi.
“Twafunye okutendekebwa okwawamu nga ttiimu nga wano twayambiddwa okumanya engeri gye tusobola okuzibiramu bannaffe abakulembedde n’okulemesa abalabe okutuyitaako, ” Maxime bwe yagambye.
Kenya kati erina omugugu munene ogugirindiridde okukyusa ebyavudde mu laawundi eyasoose bwe banaaba badding’anye mu wiikendi ya December 8-10 e Kanya, singa enaabeera yaakuwangula ngule eno.
Omutendera gw’abali wansi w’emyaka 6 gwe gwasinze okuleteera Uganda obubonero nga gwakung'aanyiza 365.