TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Issa Ssekatawa abadde mu kibinja ekiwakanya obukulembeze bwa Magogo yetondedde FUFA

Issa Ssekatawa abadde mu kibinja ekiwakanya obukulembeze bwa Magogo yetondedde FUFA

Added 17th April 2017

Issa Ssekatawa abadde mu kibinja ekiwakanya obukulembeze bwa Magogo yetondedde FUFA

 Ssekatawa ng'ali mu makaage e Namasuba afa obulumi bw'ekiwundu ky'okugulu

Ssekatawa ng'ali mu makaage e Namasuba afa obulumi bw'ekiwundu ky'okugulu

ISA SSEKATAWA eyaliko omuzannyi wa Express ne Cranes era nga yoomu ku babadde mu kibinja ekiwakanya obukulembeze bwa Moses Magogo ekimaze ekiseera nga kirumba ekitebe kya FUFA ekikulemberwa Dan Walusimbi avuddeyo mu butongole ne yeetondera FUFA wamu ne bannabyamizannyo bonna mu ggwanga  olw'ebikolwa eby'effujjo by'abadde akola ne banne.

Ssekatawa asabye FUFA Pulezidenti n'abakulembeze abalala mu FUFA okumusonyiwa kubanga byonna by'abadde akola abadde yawubisibwa Dan Walusimbi.

Ssekatawa asangiddwa mu maka ge e Namasuba mu Para Zooni agambye nti yejjusa eky'okwegatta ne banne  okulumbanga FUFA nga bagiranga ensonga omutali era n'ayongerako nti takyaddamu kwetaba mu ntalo kubanga teziriimu mulamwa wadde

 

Ssekatawana oluvannyuma alaajanidde bannabyamizannyo banne bonna gye bali  wamu ne FUFA okuvaayo bamudduukirire n'obuyambi by'ensimbi obukadde 15 asobole okufuna obujjanjabi obw'okugulu okumufuukidde ekizibu.

Bulijjo nkimanyi bulungi nti bye tukaayanira tebirina mulamwa okuggyako okumalira abantu ebiseera wabula ate bwenddwadde nnyongedde okukitegeera nti n'abantu bulijjo bendowooza nti tuli nabo mu kaweefube w'okutaataaganya enkola za FUFA banvuddemu oluvannyuma lw'okufuna obuzibu ne mbalaajanira nga tewali noomu asobola ku nnyamba wadde okubalabako n'okubawuliza.Bwatyo Ssekatawa bw'ategeezezza

Ssekatawa ayongeddeko nti wadde nga ayagala obukadde 15 kyokka nga n'ayina entono azeetaga nga osobola okuziyisa ku nnamba 0703-83 88 33 wamu ne 0773- 32 3890  

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...