TOP

Baamalidde obudde mu kuwoominga ne bafiirwa ekikopo

Added 17th April 2017

Baamalidde obudde mu kuwoominga ne bafiirwa ekikopo

Kinyanya FC 0-1 Nsambya Youth Stars FC

OBUDDE abasambi  ba Kinyanya FC bw'emaze ng'omupiira tegunnatandika, bajuliridde  okubongeza eddakiika kibasobozese okufuan ggoolo ey'ekyenkannyi wabula nga tekikyasoboka.

Ng'omupiira tegunnatandika, abasambi  ba Kinyanya baabadde ng'abatidde kuba bano obwedda bayitibwa okuyingira ekisaawe wabula  nga beefudde abakyabuguma kuba ne bwebabamliriza, basoose kugendako mu bawagizi baabwe nga webabakwata mungalo.

 

Bano tebakomye kwekyo, kuba n'ekitundu ekisooka wekyawedde nga bagenze mu kuwumula, abawagizi babetolodde nga bababuulira eby'okukola  kuba Nsambya Youth  Stars gye babadde battunka nayo yayingidde ekisaawe nga tebannaba.

Wabula eky'okutwala obudde nga tebayingira kisaawe tekyalemesezza ba Nsambya Youth Stars ku bawangulako kikopo na kimeeme w'embuzi ng'ebakubye  ggoolo 1-0  kuba n'edakiika zatuuse n'okugwayo, ng'aba Kinyanya  baagala babongeremu naye nga tekikyasoboka.

Bano baabadde mu mpaka z'ababazi b'e Nsambya eziyitibwa NSACARJA Easter Cup ezayindidde ku kisaawe kya  ST.  Peter's S.S.S e Nsambya.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...