TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Abakubi b'ebikonde abagenda okwetaba mu z'ensi yonna bapimiddwa leero

Abakubi b'ebikonde abagenda okwetaba mu z'ensi yonna bapimiddwa leero

Added 22nd April 2017

Abakubi b'ebikonde abagenda okwetaba mu z'ensi yonna bapimiddwa leero

Abakubi b’ebikonde abagenda okulwanira engule y’ensi yonna eya Universal Boxing Organization basuze bulindaala oluvanyuma lw’okupimibwa ne beenkanya obuzito.

Mu kupima okubaddewo ku Bat Valley, Shahim Adygezalov enzaalwa ya Russia avuddemu kiro 65.15 ate Amos Mwamakula owa Tanzania n’avaamu 65.01 nga zonna zikwatagana n’obuzito bwa Welterweight.

Olulwana luno olujja okusoosaawo endala mwenda ezitali zaamisipi lusuubirwa okulabwa n’ababaka b’amawanga gombi okuli owa Russian ne Tanzania.

Nga bayingira olulwana luno Shahin yeesize bukodyo nga tanakubwamu ku nwana 8 mw’akubidde ne K.O 7 so nga Mwamakula alina enwana 23 kw’awangudde 15 n’awangulwa 6 ate n’alemagana 2.

Abalala abagenda okusindana n’Abatanzania ye Zebra Senyange, Badru Lusambya ne Rogers Semitala.

Okumyuka wa Pulezidenti wa UPBC era nga y’agenda okukulira abalamula ebikonde bino, Simon Mukisa asomedde abakubi bonna amateeka omuli obutakolera katemba mu miguwa, okwambala obulungi n’ebirala.

Ensitaano esuubitwa kutandika ku ssaawe 8:00 okusinziira ku Eddie Bazira owa Pro Box Promotions abategese

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...

Ggoolokipa Lukwago agudde m...

GGOOLOKIPA wa KCCA FC ne Uganda Cranes, Charles Lukwago agudde mu bintu bw’afunye kkampuni egenda okumwambazanga...

Mabirizi addukidde mu kkoot...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi addukidde mu kkooti enkulu mu musango gw'avunaana Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo n'agisaba...

Abatuuze batabukidde omuser...

Abatuuze ku byalo bina okuli; Kigando, Kirumba, Sozi ne Bukaana mu ggombolola y'e Mijwala e Sembabule bali mu kutya...

Fr. Tamale aziikiddwa wakat...

AKASEERA kakwennyamira mu bannaddiini n'abakungubazi abeetabye mu kitambiro kya mmisa ekulembedde omukolo gw'okuziika...