TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Abakubi b'ebikonde okuva e Tanzania batuuse okwetaba mu mpaka ku ssande

Abakubi b'ebikonde okuva e Tanzania batuuse okwetaba mu mpaka ku ssande

Added 22nd April 2017

Abakubi b'ebikonde okuva e Tanzania batuuse okwetaba mu mpaka ku ssande

Omukubi w’ebikonde okuva e Tanzania Amos Mwamakula atuuse okusindana ne Shihin Adygezalov enzaalwa ya Russia nga balwanira engule y’ensi yonna eya Universal Boxing Organization ey’obuzito bwa Welteweight (kiro 72).

Abazannyi bonna bapimiddwa enkya ya leero okwetegekera olulwana luno.

Mwamakula atuuse n’omutendewi we Esmail Abdallah wamu n’abakubi abalala abagenda okusindana ne Bannayuganda okuli Bakara Makansope ng’ono agenda kulwana ne Badru Lusambya, Imani Daudi agenda okulwana ne Zebra Senyange wamu ne Sunday Kiwale agenda okukwatagana ne Rogers Semitala.

Bannayuganda abalala abagenga okulabikako mu miguwa ye Joe Vegas Lubega agenda okukwatagana ne Nicholas Buule mu nwana ezigenda okubeera ku The New Obligato ku Bat Valley ku enkya ku Ssande.

Abazannyi eggulo baabadde ku kutendekebwa ku nguudo okucamula abawagizi b’ebikonde era bangi ne basuubiza okweyiwa ku Bat Valley okuwagira abantu baabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...

Ggoolokipa Lukwago agudde m...

GGOOLOKIPA wa KCCA FC ne Uganda Cranes, Charles Lukwago agudde mu bintu bw’afunye kkampuni egenda okumwambazanga...

Mabirizi addukidde mu kkoot...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi addukidde mu kkooti enkulu mu musango gw'avunaana Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo n'agisaba...

Abatuuze batabukidde omuser...

Abatuuze ku byalo bina okuli; Kigando, Kirumba, Sozi ne Bukaana mu ggombolola y'e Mijwala e Sembabule bali mu kutya...

Fr. Tamale aziikiddwa wakat...

AKASEERA kakwennyamira mu bannaddiini n'abakungubazi abeetabye mu kitambiro kya mmisa ekulembedde omukolo gw'okuziika...