
Ebivudde mu bikonde bya UBO Welterweight Title:
Shahin Adygezalov (Russ) awangudde Amos Mwamakula (Tz) RSC
Ebyajje abalabi ekifu ku maaso:
Zebra Senyange (Ug) akubye Imani Daudi (Tz) 3-0
Badru Lusambya (Ug) akubye Baraka Mwakansope (Tz) K.O II
Rogers Semitala (Ug) akubye Sunday Kiwale (Tz) K.O II
Joe Vegas Lubega akubye Charles Kakande K.O II
Abdu Sebute akubye Davis Luswata K.0 II
Mustafa Katende akubye Yasin Kakungulu K.O II
Frank Kiwalabye akubye Sonny Kalule K.O I
Charles Mulindwa akubye Sula Katumba K.O I
OMUKUBI w’ebikonde Shahin Adygezalov asitukidde mu ngule y’ensi yonna eya Universal Boxing Organization gw’abadde avuganya naye Amos Mwamakula okuva mu Tanzania bw’amenye amateeka n’amukubisa omutwe.
Bino bibaddewo mu lukontana olw'omukaaga nga babadde balina okulwana enkontana 12 okufunano awangula omusipi gw’ensi yonna ogwa era nga ddiifiri Jackson Mugwanya ategeezezza nti okumenya amateeka g’ebikonde kye kivuddeko okuyimiriza omuzannyo n’okuwa Shahin obuwanguzi.
Ensitaano ebadde ku The New Obligato ku Bat Valley mu bikonde abakubi ba Tanzania b’onsatule abazze okuvuganya mwe bawanguliddwa nga Badru Lusambya akubye Baraka Mwakansope K.O mu lukontana olwokubiri Zebra Senyange n’akuba Imani Daudi ku bubonero mu nkontana 6 ate Rogers Semitana n’akuba Sunday Kiwale K.O mu lukontana olwokubiri.