
KCCA FC etangaazizza emikisa gyayo egisitukira mu kikopo kya sizoni eno bw’ekubye Kirinnya Jinja SS ggoolo 5-1 mu maka gaayo e Lugogo.
Sulaimon Akinyemi ye yasoose okuteebera KCCA mu ddakiika y’e 14 nga Geoffrey Sserunkuuma (34) tannateeba y'akubiri eyayongedde okulaga essuubi lya batabani ba Meeya okutwala ekikopo.
Mu kitundu ekyokubiri mu ddakiika eya 55,kapiteeni wa KCCA, Denis Okot yasindikidde omuteebi wa Kirinnya (James Otim) mu ntambwe ddiifiri Mashood ssali n’agaba peneti eteebeddwa Bashir Mutanda.
Oluvannyuma lwa ggoolo ya Mutanda, Kirinnya yayongedde okunyigiriza KCCA n’essuubi ly’okufuna ggoolo y’ekyenkanyi kyokka okujja kwa Ivan Ntege eyagumizza amakkati ga KCCA kwakendeza sipiidi Kirinnya kwebadde erumbira okukakana nga bamizze ggoolo endala 3 eza Derrick Nsibambi (76, 86) ne Noel Nasasira (87).
KCCA kati eyagala akabonero kamu okulangirirwa ku bwa nnantameggwa bwa liigi ya Uganda owa sizoni eno. Ezaako Lweza ku Lwokubiri e Lugogo.