TOP

Ensonga 9 eziyambye KCCA FC okutwala ekikopo

Added 10th May 2017

EGGULO, KCCA FC yalangiriddwa ku bwakyampioni bwa liigi ya babinywera omwaka ogwokubiri ogw’omuddirihhanwa oluvannyuma lw’okukuba Lweza FC ggoolo (2-0).

 Abazannyi ba KCCA FC.

Abazannyi ba KCCA FC.

Kino kikopo kya 12 mu byafaayo bya ttiimu, sso ng’era mulundi gwakusatu nga bakiwangula emirundi ebiri egiddiring'aana. STEPHEN MAYAMBA akulaze ebiyambye KCCA FC okutuuka ku buwanguzi.

Enkola y’emirimu:

Bangi balowooza nti bw’oba ne ssente ng’omaze, naye bw’oba tomanyi kuzikozesa oyinza okulemererwa okubaako ky’okola. Okuva Julius Kabugo lwe yalondebwa ku bwassentebe bwa ttiimu, enkola y’ebintu e Lugogo yakyuka.

Buli muntu alina omulimu gw’akola, ate nga teri yeeyingiza mu gy’abalala. Kino kiyambye Kabugo okuwa omulimu gwe obudde obumala buli kimu n’akituukiriza nga bwe kirina okubeera.

Obukulembeze bwa kiraabu;

Kabugo nga yeegasse ne Nnankulu w’ekibuga, Jennifer Musisi, bakoze kya maanyi okufuula KCCA FC ttiimu eyanguyirwa okufufuggaza endala.

Musisi obwagazi bw’alina eri omupiira abulagidde mu kuteeka nsonga za ttiimu ku mwanjo, n’akozesa obukulu bwe okulaba nga tejula mu byensimbi.

Kabugo tagwa mipiira gya KCCA FC, sso ng’era teyeefuula wa kitalo eri abakozi abalala, nga n’abazannyi mw’obatwalidde.

Enkolagana eno eyamba abakozi n’okukola emirimu n’obwagazi.

Ssente:

KCCA FC efuna ssente eziri mu buwumbi, okuva mu kitongole kya KCCA, ekigiwa enkizo ku ttiimu endala kuba ezimu zimala myezi na myezi nga tezisasula bazannyi na batendesi.

Abazannyi ba KCCA FC be bamu ku basinga okusasulwa obulungi, ate mu budde.

Tebalina kye bajula, era buli mbeera ya bulamu eyeetaagisa omuzannyi okukola obulungi ekolebwako mu budde, bo ne basigaliza kusamba mupiira nga tebalina kibasumbuwa.

Ssente zino era zibayambye okugula buli muzannyi gwe beegwanyiza.

Ng’oggyeeko ensimbi z’ekitongole, ne basiponsa bagiyaayaanira sso nga kiraabu ezimu tezirina wadde kkampuni ezikiina bookisi y’amazzi.

KCCA FC erina kkampuni ssatu ezigiteekamu ssente. Kuno kuliko; Star Times, Prime Media ne Britam.

Omutendesi:

Obuwanguzi KCCA FC bw’etuuseeko toyinza kubwawula ku mutendesi Mike Mutebi.

Wadde abamu bagamba nti si mwangu, amanyi okuggya mu bazannyi ekyo ky’agyagala. Atadde empisa mu bazannyi era beeyisa nga bapulofeesono ng’omupiira bagutwala ng’omulimu sso si kweraga.

Ne ku kisaawe, beegendereza nnyo era kizibu okufuna kaadi ez’ejjenjeero. Ekirala, Mutebi alina abayambi okuli abatendesi abalala 6 n’abasawo 2.

Kuno kw’ossa abamuyamba okuwandiika notisi ku bazannyi bye bakola ku kisaawe, n’atuuka okukunya omuzannyi ng’obujulizi abulina.

ABAZANNYI :

KCCA FC erina abazannyi bangi ate abalungi nti etuuka ne ku ssa eryazika ttiimu endala, era obuvune tebugikosa. Omutindo gw’abamu ku bazannyi bwe gukka, abalala basobola okusittula ttiimu n’efuna obuwanguzi bwe yeetaaga.

Okugeza, Jackson Nunda ne Hassan Wasswa balungi, naye obuvune bubalemesezza okuzannya sizoni eno, naye ttiimu tebasubiddwa nnyo.

Ekisaawe:

Okuva KCCA FC lwe yatandika okuzannyira mu kisaawe ky’ekiwempe, wabadde tewali agyegezaamu era obubonero obusinga ebufunidde waka. Vipers ye ttiimu yokka eyagikubidde ku kisaawe kino.

Endala zibaddenga zijja zaatidde dda ekiwempe, ne ziremererwa okugiwangula.

Kuno bw’ogattako n’omukwano baddiifiri n’akakiiko gwe bagiraze, kibadde kizibu butawangula kikopo. Villa egibadde ku mbiranye, ebaddenga mu maaso emipiira mingi, ate nga ne baddiifiri bagiwadde nnyo peneti.

Abawagizi:

Ttiimu gy’ekoma okukola obulungi n’abawagizi okweyongera, era sizoni eno abawagizi ba KCCA FC beeyongedde ne bagiyamba okuzza mu bazannyi amaanyi.

Obunafu bw’abagivuganya;

Villa, Express, Vipers, ne URA tezikoze bulungi sizoni eno. URA ne Vipers zirina obusobozi n’ensimbi okuvuganya obulungi KCCA FC, naye zirina ebizibu ebyenjawulo okuva ku ntalo mu bazannyi, okukyusakyusa abatendesi, n’ebirala.

Express ne Villa tezisobola kuvuganya KCCA mu bya ssente era zaasigalira kuzannyisa bazannyi bakadde abatakyalina nnyo kye basobola kuziyamba kulwanira bikopo.

Okwetaba mu mpaka z’Afrika;

KCCA FC ezannye empaka z’Afrika era ye ttiimu ya Uganda esoose okutuuka mu gy’ebibinja. Ttiimu ez’enjawulo z’ezannye, omuli ne Mamelodi Sundowns bakyampiyoni ba Afrika, zigiyambye okwekkiririzaamu.

ABAALIKO BA SSITA BOOG EDDE:

Tom Lwanga;

Ng’eyazannyirako ttiimu eno ate nga mu kiseera kino ndi mukulembeze waayo, ndi musanyufu olw’engeri gye tukozeemu. Tulina abazannyi abalungi ate nga bafiibwako. Omutendesi, wamu n’abawagizi bituyambye nnyo.

Paul Ssali;

Nze omu ku baalwana ennyo okulaba nga ttiimu ezzibwa ekitongole, wadde abamu baalowooza nti tulwanyisa Godfrey Kisekka. Ekitongole kiyambye nnyo kuba kirina obusobozi, era okuva lwe kyeddiza obuvunaanyizibwa buli kimu kyeyagaza.

Wadde byonna bigenze bulungi, KCCA FC ekyalina okusoomozebwa, omuli okwongera okusikiriza abawagizi okulaba emipiira, kuba aba Villa, Onduparaka ne Express, bagisaanikira e Lugogo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...