TOP

Van Pee asanyukidde omutindo gw'abavuzi

Added 15th May 2017

Van Pee asanyukidde omutindo gw'abavuzi

ABAVUZI ba ddigi booleesezza obukugu n’obukoddyo obw’enjawulo mu kuvuga n’okuzibuusa nga balwanira obubonero ku ngule z’eggwanga ez’enjawulo n’okufuna ekifo ku ttiimu y’eggwanga.

Uganda,  yeetegekera mpaka z’Afrika ezigenda okubeerayo mu August. Maxime Van Pee kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga, yalaze essuubi nti Uganda ejja kusituukira mu mpaka ezo olw’omutindo abavuzi gwe baayolesezza.

“Nga tukyabuzaayo empaka za murundi gumu okugenda mu z’Afrika, ndi mumativu n’omutindo abavuzi kwe bali era nnina essuubi nti tujja kuzisituukiramu,” Van Pee bwe yagambye.

Ku ssande, abavuzi baavuganyiza mu mpaka za laawundi  eyookuna e Garuga ng’eno Van Pee gye yakakasirizza obusobozi baabwe.

Gift Ssebuguzi, William Blick Jr, Fortune Ssentamu, Akena Obote, Alestair  Blick, Fatuh Kiggundu ne Maxime Van Pee bawangudde emitendera mwe bavuganyiza wabula nga buli omu yasitaanye okumegga bavuganya nabob olw’omutindo ogabadde waggulu. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC ng'ayogera eri abantu.

Ab'e Bukomansimbi mwewale e...

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y'e Bukomansimbi, Yahaya Kakooza alabudde abantu b'e Bukomansimbi obutetantala...

Isma yeetondedde Full Figur...

Isma abeera ku mikutu gya sosolo midiya ng'ayogerera banne amafuukule kyaddaaki yeetondedde Full Figure gwe yavuma...

Isma atabukidde Bajjo olw'o...

Isma atera okubeera ku mikutu gya sosolo midiya egy'enjawulo ng'avuma abantu n'okuboogerera ebikankana atabukidde...

Minisita ng'ayogera eri abasuubuzi.

Okulonda abakulembeze b'aka...

Okulonda kw'abakulembeze b'abasuubuzi mu katale k'e Wandegeya kuyiise abasuubuzi bwe bawakanyizza amateeka agabadde...

Abaana b’omugenzi Ssentamu mu kkooti e Mbarara.

'Pulezidenti tuyambe ku mug...

ABAANA b'omugenzi Ssentamu eyali abeera mu kibuga Mbarara nga bakulembeddwaamu omusika, Kyagulanyi Ssentamu balaajanidde...