TOP

Bannayuganda batimpudde Abazungu mu nsambaggere

Added 15th May 2017

BANNAUGANDA abakubi b’ensambaggere Patricia Apolot ne Alex Mastiko balaze Abazungu ery’aanyi bwebabakubye n’ebeddiza emisipi gya ‘WKF Inter-continental titles’ mu nnwana ezaabumbujidde mu kisaawe kya MTN Arena e Lugogo.

 Patricia Apolot ku kkono ng'ayambazibwa omusipi, amuliraanye ye mugagga Jack Pemba ate ku ddyo ye Carina Griemel enzaalwa ya Austria gwe yakubye. Ebif: Fred Kisekka.

Patricia Apolot ku kkono ng'ayambazibwa omusipi, amuliraanye ye mugagga Jack Pemba ate ku ddyo ye Carina Griemel enzaalwa ya Austria gwe yakubye. Ebif: Fred Kisekka.

BANNAUGANDA abakubi b’ensambaggere Patricia Apolot ne Alex Mastiko balaze Abazungu ery’aanyi bwebabakubye n’ebeddiza emisipi gya ‘WKF Inter-continental titles’ mu nnwana ezaabumbujidde mu kisaawe kya MTN Arena e Lugogo.  

Apolot yakubye Carina Griemel ku bugoba mu luzannya olwa lawundi 9 ate Matsiko n'akuba Alexander Dokter tonziriranga (TKO) eyamusudde mu lawundi ey’okutaano wadde nga baabadde bakumalako lawundi 12.  

Abawagizi ba Alex Mastiko nga bamusitudde oluvannyuma lw'okweddiza omusipi gwa WKF Light Middle title.

 

Oluvannyuma lw’obuwanguzi buno, kati Apolot yaakazannya ennwana 14 eza pulofesono mu buzito bwa ‘Light’ kw'awangudde 13 n’okukubwamu gumu ate Matsiko azannyira mu buzito bwa ‘Light Middle’ yagenze ku nnwana 20 kw'awangudde16 n’okukubwa emirundi 4.  

Jack Pemba yawadde Patricia Apolot ne Mastiko buli omu obukadde 2,500,000 olw’okwediza emisipi gino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...