TOP

Abatendeka amasaza bali ku bunkenke

Added 21st May 2017

Abatendeka amasaza bali ku bunkenke

 Kaddu

Kaddu

Leero (Ssande) ssaawa 10:30

Kyaddondo - Mawokota e Lugogo
Butambala - Busiro e Kibibi
Mawogola - Ssese e Ssembabule
Kabula - Buddu e Lyantonde
Gomba - Busujju e Kabulasoke
Ssingo - Buweukula e Mityana
Bulemeezi - Bugerere e Kasana
Kyaggwe - Buluuli e Lugazi

BATABANI ba Kaggo aba Kyaddondo basuubirwa okweyiwa mu kisaawe kya KCCA FC e Lugogo olwaleero (Ssande) okuwagira ttiimu yaabwe ng’ettunka ne Mawokota mu mipiira gy’Amasaza.

Ng’oggyeeko fayinolo, guno gwe mulundi ogugenda okusooka ttiimu y’essaza okukyaliza mu kibuga wakati. Kyaddondo, etendekebwa Badru Kaddu, amyuka Mike Mutebi ku KCCA FC.

Ono agamba balina okufuula ekisaawe kino akattiro nga bannyini kyo (aba KCCA FC). Guno gugenda kuba mupiira gwa Mawokota gwakubiri ng’ogwasooka yakubiddwa Butambula (2-1) e Buwama wiikendi ewedde.

E Luweero mu Kasana, Bulemeezi ekyaza Bugerere ng’omutendesi Gerard Ssenkungu awera kuddamu kukaabya Bugerere nga bwe gwali omwaka oguwedde bwe yagikuba (3-1) mu kisaawe kino kyennyini.

Bugerere yawangudde Kyaggwe (2-1) mu gwasoose era nga mu kaseera kano y’ekulembedde ekibinja. Bulemeezi yalemaganye ne Buluuli (1-1).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...