TOP

Savio Kabugo akomyewo mu Cranes

Added 26th May 2017

Omuzibizi wa Proline FC, Savio Kabugo akomyewo ku ttiimu y’eggwanga oluvannyuma lw’emyaka esatu bwe yagivaako olw’obuvune.

 Savio Kabugo, Hassan Wasswa ne Bagole mu kutendekebwa kwa Cranes abazannyira awaka abagenda okwetaba mu mpaka za CHAN. Baabadde Namboole May 25 2017. (Ekif:Silvano Kibuuka)

Savio Kabugo, Hassan Wasswa ne Bagole mu kutendekebwa kwa Cranes abazannyira awaka abagenda okwetaba mu mpaka za CHAN. Baabadde Namboole May 25 2017. (Ekif:Silvano Kibuuka)

Omuzibizi wa Proline FC, Savio Kabugo akomyewo ku ttiimu y’eggwanga oluvannyuma lw’emyaka esatu bwe yagivaako olw’obuvune.

Kabugo yazzeemu okusamba liigi sizoni ewedde era n’ayamba kiraabu ye okusigala mu liigi ya Azam Super League.

Omutendesi wa Cranes Sredejovic Micho amuyise addemu okuvuganya ku nnamba nga y’omu ku bazibizi abali mu ttiimu eri mu kutendekebwa e Namboole egenda okukiikirira eggwanga mu mpaka za CHAN ez’empaka za CAF ez’amawanga ga Africa mu basambi abasambira awaka.

Uganda eggulawo ne South Sudan nga July 15 e Namboole.

Abasambi 30 be bali mu kutendeka kuno era nga Micho agenda asuula abatatuukana na mutiindo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...