TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • KCCA ne Express buli omu awera kwesogga fayinolo ya Uganda Cup

KCCA ne Express buli omu awera kwesogga fayinolo ya Uganda Cup

Added 30th May 2017

ZAAKUDDA okunywa akawungeezi ka leero nga kirabu ebbiri ezimu ku zisinga amaanyi mu mupiira gwa Uganda Express FC ne KCCA FC zittunka mu kisaawe e kya Muteesa I e Wankulukuku okufunako emu eyeesogga fayinolo y’empaka za Uganda Cup.

Omupiira gwa leero gwa luzannya lwa lwakubiri nga KCCA FC yawangudde olwasoose lwe yakyazizza mu maka gaayo e Lugogo ku kisaawe kya Philip Omondi Stadium ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde era omupiira gwawedde KCCA FC ebala ggoolo 3-2 Express FC.

Obuwanguzi buno bwawedde KCCA FC enkizo okwesogga fayinolo era nga yetaaga kulemagana kwokka so nga bannyinnimu aba Express FC era abaakasinga okuwangula ekikopo kino (12) bagaala kuwangula ggoolo 1-0 okwesoga fayinolo egenda okuzannyibwa mu Arua wiikendi ejja nga June 10.

Omuwanguzi wa semi fayinolo eno waakuzannya kiraabu ya Paidha Black Angels ey’ekibinja eky’okubiri (Big League) eyeggyeemu Sadolin Paints FC ku Lwomukaaga ku mugatte gwa ggoolo 3-2 e Namboole.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu