TOP

Cranes etandise kaweefube okuddayo mu za Afrika

Added 30th May 2017

UGANDA Cranes wansi w’omutendesi Micho Sredojevich enkya ya leero etandise mu butongole okutendekebwa mu kisaawe e Namboole mu kaweefube w’okuddayo mu mpaka z’omupiira gwa Africa ez’akamalirizo.

 Ttiimu ya Uganda Cranes eyatandika omupiira gwa Mali mu mpaka za AFCON 2017 e Gabon. Uganda etandise kaweefube w'okuddamu okuzannya mu AFCON nga yeetegekera omupiira gwa Cape Verde ogw'okusunsulamu mu za AFCON 2019. (STEPHEN MAYAMBA)

Ttiimu ya Uganda Cranes eyatandika omupiira gwa Mali mu mpaka za AFCON 2017 e Gabon. Uganda etandise kaweefube w'okuddamu okuzannya mu AFCON nga yeetegekera omupiira gwa Cape Verde ogw'okusunsulamu mu za AFCON 2019. (STEPHEN MAYAMBA)

Cranes omwaka guno yeegyako ekikwa kya myaka 39 bwe yakiika mu mpaka za AFCON 2017 ezali e Gabon. Yali yakoma okwetabamu mu 1978 mu mpaka ezali e Ghana.

Cranes etandise okwetegekera omupiira gwayo okusooka mu z’okusunsulamu mu kibinja L ng’esooka kukyalira Cape Verde nga June 10.

Tanzania ne Lesotho ge mawanga amalala agali mu kibinja era ng’omuwanguzi waakuyitamu butereevu.

Abazannyi bakedde kuyingira nkambi ku wooteeri ya Sky e Naalya abazannyi gye bagenda okusuzibwa nga bwe batendekebwa era nga basuubirwa okusitula ku Lwokuna okwolekera Ethiopia, Cranes gy'egenda okuzannyira ogw’okwegezaamu ne bannyinimu ku Lwomukaaga nga June 3 mu kisaawe kya Hawassa International Stadium mu kibuga Hawassa.

Cranes yaakuva mu Ethiopia boolekere ekibuga Dakar ekya Senegal nawo we bagenda okuzannyira ogw’okwegezaamu ne bannyinimu nga June 6 nga tebannagenda Cape Verde okwetegekera omupiira gw’okusunsulamu ne bannyinimu mu kibuga Pria.

Cameroon y'egenda okutegeka empaka za AFCON 2019 era nga Cranes teyagala kuddamu ku kalindirira kumala bbanga ddene nga bwe gwali.

Enteekateeka ya Cranes mu bujjuvu;

Egy’okwegezaamu;

June 3, 2017: Ethiopia - Uganda Cranes

June 6, 2017: Senegal - Uganda Cranes

Ez’okusunsulamu za AFCON 2019 qualifier (kibinja L):

June 10, 2017: Cape Verde - Uganda Cranes 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Maj.Bilal Katamba

Bannakampala mukomewo mukol...

AMAGYE gagumizza abantu abakolera mu Kampala nti tewali ajja kutabangula mirembe wadde bizinensi zaabwe noolwekyo...

Maama Kisanja (wakati) ne banne.

Maama Kisanja yawangudde ek...

OKULONDA omukadde agenda okukiikirira abakadde mu lukiiko lw'eggwanga olukulu kuwedde e Luweero era nga Maama Kisanja...

Nancy Kalembe omukazi yekka eyeesimbewo ku bwapulezidenti.

'Sikkaanya na byavudde mu k...

EYABADDE avuganya ku bwa pulezidenti Nancy Linda Kalembe agambye nti si mumativu n'ebyo akakiiko k'ebyokulonda...

Senyomo

Ono akalulu akanoonyeza nju...

Deus Senyomo eyeesimbyewo ku bwannamunigina okuvuganya ku kifo kya kansala mu KCCA ( LC V) mu miruka gya;  Lubaga...

Abamu ku b’eng’anda z’abaafudde nga baaziirana.

Omusajja asse omukazi n'aba...

DOREEN Namutebi 32, afudde alaajana mu muliro ogumusse n'abaana bana e Katooke-Nansana. Moses Ssebadduka nga ye...