
Amyuka Pulezidenti w'eggwanga Eddward Kiwanuuka owookusatu okuva ku kkono. Ate amuddiridde ye Minisita w'eggwanga ow'Ebyobulambuzi, Kiwanda Suubi wamu n'abakungu okuva e China nga baggulawo mu butongole empaka za Dragon Boat e Ntebbe. Ekif-Fred Kisekka.
Ssekandi bino yabyogedde aggalawo empaka za ‘Dragon Boat’ ezaabumbigidde ku Wild Life Centre Entebbe ku Ssande n'agamba nti amaato gasaanye okuweebwa enkizo mu mizannyo gya Olympics eginaabaawo mu 2020 e Japan kubanga gaggyayo ekifaananyi ekituufu ku mizannyo gya Uganda ginnansangwa.
“Tugenda kusoosoowaza omuzannyo guno kubanga tegukoma kutunda byabuwangwa byaffe wabula gwe gumu kw’egyo egyatandikibwawo bajjajjaffe,” Ssekandi bwe yagmbye.
Ye Minisita w'eggwanga ow'Ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Suubi yafaraasidde Bannayuganda bongere obuwagizi bwabwe eri omuzannyo gw’amaato kubanga kyabulambuzi eri eggwanga.
Ttiimu 15 ze zeetabye mu mpaka zino ezaawanguddwa A-One okuva e Jinja ng’abavuzi abaasobye mu 300 be baazeetabyemu.