
Ttiimu ya Villa eyakubwa Expres (1-0). Abali mu maaso okuva ku kkono; Martin Kizza, Godfrey Lwesibawa, Samson Kiirya, Abel Etrude ne Ambrose Kiirya. Abali emabega okuva ku kkono ye; Henry Katongole, Joseph Nsubuga, Ibrahim Kiyemba, Umar Kasumba, John Adriko ne Tadeo Lwanga.
SC Villa, abaakutte ekyokubiri mu 'Azam Uganda Premier League' sizoni ewedde, be basinze okulugwamu bwe babasokoddemu abazannyi 5, ttiimu kw'ebadde etambulira.
Kapiteeni, Tadeo Lwanga, ye yakulidde ekisinde bwe yagenze mu Vipers.
Ono agambibwa nti yaweereddwa doola 10,000 (eza Uganda obukadde 36) ku ndagaano ya myaka ebiri.
Omuwuwuttanyi ono, aludde ng'apererezebwa KCCA FC wabula enteeseganya ne bakyampiyoni (KCCA) zaagudde butaka bwe yagaanyi 5,000,000/- nga ye (Tadeo) yalemedde ku bukadde 52.
Akulira ebyensimbi mu Vipers, Vincent Sajjabi yategeezezza nti Tadeo tebannamumaliriza kyokka nga bamwagala.
Tadeo yakakasizza nti buli kimu kyawedde okukkaanyizibwako ng'eggulo lwe yabadde alina okussa omukono ku ndagaano.
Tadeo asuubirwa okusikira Siraje Sentamu, eyagenze mu URA sso nga ne Kezironi Kizito yakansiddwa AFC Leopards ey'e Kenya.
URA NAYO EGGYEEMU
URA FC, eyamalidde mu kyokuna mu liigi, nayo eddukidde mu Villa n'eggyayo Denis Kamanzi ne Patrick Mbowa.
Bano esuubira okugiyamba mu kitongole ekiwuwuttanyi ekirimu Shafiq Kagimu, Nicholas Kagaba, Hood Muliki ne Said Kyeyune.
EZ'E KENYA ZIGUZEEMU
Omuteebi wa Villa, Umar Kasumba yeegasse dda ku Sofapaka (Kenya) etendekebwa Sam Ssimbwa.
Kasumba yateebye ggoolo 5 sizoni ewedde.
OMULALA ATIISATIISA
Omuzibizi Henry Katongole naye atiisizza okutambulamu singa abakungu ba Villa tebanguwa kuzza buggya ndagaano ye.
Endagaano ye yaweddeko n’asaba obukadde 15 kyokka ensonda mu ttiimu zaagambye nti abakungu baasazeewo nti tewali muzannyi ajja kusussa bukadde 10.
Akulira emirimu mu Villa, Ivan Kaekembo yagambye nti ali mu luwummula tamanyi bigenda mu maaso mu ttiimu.