TOP

Aba Rugby Cranes bakyalina essuubi

Added 13th June 2017

KAPITEENI wa ttiimu y’eggwanga eya rugby (Rugby Cranes) asabye Bannayuganda obutaggwaamu ssuubi, wadde nga Kenya yabawangudde ku bubonero 23-18.

 Omulangira David Wasajja (wakati) ng’alambula abazannyi ba Rugby Cranes. Ku ddyo, abazannyi ba Kenya nga balemesa Michael Wokorach owa Rugby Cranes okudduka n’omupiira.

Omulangira David Wasajja (wakati) ng’alambula abazannyi ba Rugby Cranes. Ku ddyo, abazannyi ba Kenya nga balemesa Michael Wokorach owa Rugby Cranes okudduka n’omupiira.

Baabadde battunka mu mpaka za Elgon Cup mu luzannya olusooka, mu kisaawe kya Legends e Lugogo ku Ssande.

Brian Odongo yategeezezza nti abamu ku bazannyi baabwe baabadde balwadde, kyokka n’agumya nti we banadding’anira mu wiiki bbiri bajja kuba bawonye.

Yawagiddwa munne Asuman Mugerwa eyagambye: “ Nja kukola ekisoboka okulaba nga tumegga Kenya kuba kyannumye nnyo okwewaayo okuzannya nga kitange afudde, ne batuwangula.” Kitaawe, Sayed Ssali Karamagi yafudde ku makya g’Olwomukaaga, era ekisaawe kyasoose kusiriikirira okumala eddakiika emu ng’omupiira tegunnatandika.

Omulangira David Wassajja, omu ku bayima b’omuzannyo gwa rugby y’omu ku baabaddewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...