TOP

Micho asaanye aziyize ebyobufuzi mu Cranes

Added 15th June 2017

OMUTENDESI wa Cranes, Micho Sredojevic yalaze nti asajjakudde bwe yakinogaanyizza nti wadde yawangudde Cape Verde omwayo ggoolo 1-0 (yateebeddwa Geoffrey Sserunkuuma), Cranes ekyabulamu.

 Micho ng'abangula abamu ku bazannyi ba Cranes gye buvuddeko

Micho ng'abangula abamu ku bazannyi ba Cranes gye buvuddeko

OMUTENDESI wa Cranes, Micho Sredojevic yalaze nti asajjakudde bwe yakinogaanyizza nti wadde yawangudde Cape Verde omwayo ggoolo 1-0 (yateebeddwa Geoffrey Sserunkuuma), Cranes ekyabulamu.

Kizibu okuwulira omutendesi awangudde naddala ku bugenyi obuteewaana nti bazannye bulungi era abazannyi baatutte ebiragiro bye naye kino Micho teyakikoze.

Olaba n'omutendesi wa South Afrika, Stuart Baxter, olwamazze Nigeria omwayo (2-0) yakinagguse nti, "Olaba nsobodde okuyita mu nnyanja ate olwo ekidiba".

Ekyayogezza omutendesi oyo ebigambo bwe bityo kyavudde ku byafaayo ebibadde ku Nigeria ng'ejooga South Afrika nga tekisuubirwa nti esobola okufiirwa obubonero obusatu awaka.

Wadde emipiira egisooka giwa ekifanaanyi, wa ttiimu gy'eraga, abatendesi basaanye bakendeeze ku bigambo kuba gw'okubidde ewuwe naawe bw'oteetereeza naye asobola okukuba awabi kuba mu mupiira buli kimu kisoboka.

Ekifanaanyi omutendesi wa South Afrika kye yawadde bannansi kiraga nti emipiira emirala waakuyisa mukka mu kisero kye ndowooza nti kiyinza okumubeerera ekizibu.

Wano we mpeeredde Micho obubonero kuba wadde yawangudde, ebituli bingi yabizudde.

Ng’oggyeeko eby'abatendesi, abazannyi baffe ab'awaka, Micho ayongere okubawa omukisa naddala abo abaayolesezza omutindo omulungi.

Nabadde musanyufu ng'eyatuteebedde asambira waka kuba nakiwandiiseeko mu muko guno wiki ewedde.

Omulimu Micho gw'asigazza kwe kulwana ku byobufuzi ebyeyongedde mu mupiira obutayingira mu Cranes kuba singa binaagisensera, ebyafaayo bijja kweddamu nga bwe gwali mu myaka gy'e 90 n’egyaddirira.

Kapiteeni wa Cranes, Dennis Onyango asaanye alwane ekimala naye atwale Cranes e Cameroon mu 2019 nga Geoffrey Massa bwe yakoze, Jimmy Kirunda eyagituusaayo mu 1978.

Olw’okuba teyayingizibwamu byabufuzi kye kimu ku byabayamba. Njagala okulabula abazannyi nti okulya mu nsi yo olukwe musango gwa nnaggomola ate tekukoma mu byafuzi byokka wabula n’omupiira noolwekyo abali mu Cranes temutunuulira bannabyabufuzi b’omupiira wabula ggwanga lyamwe.

Tubadde n’abazannyi abalungi mu Uganda kyokka olw’okuba we baazannyiranga bakkiriza ebyobufuzi okubasensera ne bayiwayo ne Cranes, ebikolimo bya Bannayuganda byabagendera ku mugongo kuba abawagizi okuyingira emipiira gino basasula nga baba beetaaga ssanyu.

Nzize njogera lunye n’okukiwandiikako nti emirundi mingi Uganda ebadde ekoma ku munaabo lwa nsonga za byabufuzi sso si kuba na bazannyi babi noolwekyo, abali mu Cranes temuyiwaayo eggwanga lyammwe kuba ensolo ku kizigo kweri!.

FUFA nayo esaanye enoonye mangu ensimbi zisobole okuweebwa abazannyi nga bukyali kuba kiruma nnyo obutawangulira waka mupiira.

Abawakana, mwejjukanye ku gwa Zambia ne Kenya, zino ensobi tetusaanye kuziddamu!

kateregaya@yahoo.com 0703286309

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...