
Assi (ku ddyo) ng'akwasa Blick ceeke. Ku kkono ye; Pulezidenti wa FMU, Dusman Okee, ng'addiriddwa Noella Blick asomera Blick maapu.
Kkampuni ya Shell, ebawadde obukadde 100 bategeke empaka zino ku mutindo gw’ensi yonna.
“Pearl of Africa mpaka za maanyi, era twagala Uganda ezitegekere ku mutindo gw'ensi yonna ereme kuswala,” Gilbert Assi, akulira Shell bwe yategeezezza ng'awaayo ceeke eggulo ku ssundiro ly'amafuta ga Shell e Bugoloobi.
Empaka ze zisinga okuba ez’amaanyi ku kalenda y’engule ya Uganda (NRC) era nga ziri ne ku kalenda y’engule y'Afrika (ARC) ekulembeddwa Munnakenya Jaspreete Chatthe n’obubonero 30.
Abavuzi okuva mu mawanga okuli; Uganda, Burundi, Zambia, Kenya, Tanzania, Belgium ne Rwanda be basuubirwa okwetaba mu mpaka zino ezigenda okumala ennaku ebbiri nga zitolontoka mu bitundu by’e Busiika n’e Kayunga.
Mu kiseera kino, Ronald Sebuguzi y'akulembedde abavuzi abalwanira engule y'eggwanga ku bubonero 250.
Addiriddwa Christakis Fitidis (175), Fred Wampamba (175), Duncan Mubiru ne Omar Mayanja nga bombi balina 160.