TOP

Mwawule Cranes ku Magogo ne Micho

Added 19th June 2017

NAWANDIISE wiiki ewedde nti singa nze Micho (atendeka Cranes), Tony Mawejje atazannya mu ttiimu y’e Bulaaya ansingira Benard Muwanga atuula ku katebe mu Villa.

Cranes olwakubye Cape Verde (1-0) ku bugenyi, abantu ab’enjawulo bankubidde amasimu n’obubaka obunvuma.

Bambuuzizza kwe nsinziira okuwabula Micho ne bannangira nti ndi mw’abo abayeekera FUFA ne Ying. Moses Magogo nti kyokka naswadde kuba Cranes yawangulidde ku bugenyi.

“Olabye nnyo kasajja ggwe kuba Cranes omwabadde Muwanga gw’otoyagala, yagobye ate mukyalumwa nnyo kuba Micho ne Magogo be muyeekera bakyabafuga nnyo,” omu bwe yampalabudde ku ssimu.

Embeera eno ezze ebaawo ku buli abeera pulezidenti wa FUFA nga buli oli lw’avaayo n’ayogera ku nsobi mu Cranes, bamulumba nti ayeekera FUFA eriko!

Ttiimu y’eggwanga (Cranes) ya njawulo nnyo ku pulezidenti wa FUFA (Magogo oba yenna abaako).

Okutunga Magogo oba Micho ku Cranes kubeera kuvvoola ggwanga ddamba kubanga ttiimu y’eggwanga ya kitiibwa nnyo ate ne bwe bavaawo bombi yo teyimirira.

Magogo ne Micho bafaanako Lawrence Mulindwa ne Bobby Williamson oba Denis Obua ne Paul Hasule (bagenzi), abaagiriko mu mitambo ne bavaawo!

Omuntu bw’ayogera obubi ku Magogo oba Micho, kiba kikyamu okumuyita omulabe wa Cranes sso ng’era n’ayogerera obubi Cranes, tuleme kumutwala nga omulabe wa Magogo oba Micho.

Cranes okuwangula Cape Verde nga Benard Muwanga azannye tekitegeeza nti mulungi nnyo asinga Mawejje.

Osanga Mawejje aba kubaamu twandiwangudde ggoolo 3-0!

Cranes si ya bantu ssekinnoomu ate tukkirize abantu okutugamba ku nsobi.

Ensowera ekwagala y’ekuggwa ku bbwa.

kkawuma@newvision.co.ug 0772371990

NAWANDIISE wiiki ewedde nti singa nze Micho (atendeka Cranes), Tony Mawejje atazannya mu ttiimu y’e Bulaaya ansingira Benard Muwanga atuula ku katebe mu Villa. Cranes olwakubye Cape Verde (1-0) ku bugenyi, abantu ab’enjawulo bankubidde amasimu n’obubaka obunvuma. Bambuuzizza kwe nsinziira okuwabula Micho ne bannangira nti ndi mw’abo abayeekera FUFA ne Ying. Moses Magogo nti kyokka naswadde kuba Cranes yawangulidde ku bugenyi. “Olabye nnyo kasajja ggwe kuba Cranes omwabadde Muwanga gw’otoyagala, yagobye ate mukyalumwa nnyo kuba Micho ne Magogo be muyeekera bakyabafuga nnyo,” omu bwe yampalabudde ku ssimu. Embeera eno ezze ebaawo ku buli abeera pulezidenti wa FUFA nga buli oli lw’avaayo n’ayogera ku nsobi mu Cranes, bamulumba nti ayeekera FUFA eriko! Ttiimu y’eggwanga (Cranes) ya njawulo nnyo ku pulezidenti wa FUFA (Magogo oba yenna abaako). Okutunga Magogo oba Micho ku Cranes kubeera kuvvoola ggwanga ddamba kubanga ttiimu y’eggwanga ya kitiibwa nnyo ate ne bwe bavaawo bombi yo teyimirira. Magogo ne Micho bafaanako Lawrence Mulindwa ne Bobby Williamson oba Denis Obua ne Paul Hasule (bagenzi), abaagiriko mu mitambo ne bavaawo! Omuntu bw’ayogera obubi ku Magogo oba Micho, kiba kikyamu okumuyita omulabe wa Cranes sso ng’era n’ayogerera obubi Cranes, tuleme kumutwala nga omulabe wa Magogo oba Micho. Cranes okuwangula Cape Verde nga Benard Muwanga azannye tekitegeeza nti mulungi nnyo asinga Mawejje. Osanga Mawejje aba kubaamu twandiwangudde ggoolo 3-0! Cranes si ya bantu ssekinnoomu ate tukkirize abantu okutugamba ku nsobi. Ensowera ekwagala y’ekuggwa ku bbwa. kkawuma@newvision.co.ug 0772371990

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu