TOP

Mujib Kasule tatudde: 'Magogo mmutwala mu FIFA'

Added 20th June 2017

MUJIB Kasule alumirizza Ying. Moses Magogo okuba mu lukwe lw’okumugoba mu lwokaano lw'obukulembeze bwa FUFA, kuba aludde ng’akyogera lunye nti ayagala kuyitamu nga tavuganyiziddwa.

 Magogo (ku kkono) ng'abuuza ku Mujib Kasule oluvannyuma lw'okuggyayo empapula wiiki ewedde

Magogo (ku kkono) ng'abuuza ku Mujib Kasule oluvannyuma lw'okuggyayo empapula wiiki ewedde

Kino kiddiridde akakiiko ka FUFA akakola ku by’okulonda, okugaana Mujib okwesimbawo okuvuganya ku bwapulezidenti bwa FUFA nga kagamba nti yalemeddwa okutuukiriza ebisaanyizo.

Mu lukiiko lwa bannawulire lwe yatuuzizza ku Tipsy Restaurant e Wandegeya eggulo, Mujib yategeezezza nti akakiiko kaamugobedde bwereere kuba ebyetaagisa yabadde abirina, n'annyonnyola nga bw'agenda okutwala Magogo n’obukulembeze bwe mu FIFA eyingire mu mivuyo egy’etobese mu mupiira gwa Uganda.

“Tetusobola kubeera na bakulembeze batali balambulukufu, era hhenda kulwanirira omupiira okutuusa effuga bbi erigufumbekeddemu bwe linnaggwaawo," Mujib bwe yategeezezza, n'agattako nti okulimba abantu nti talina bisaanyizo byakubikkiriza mivuyo giri mu FUFA.

Egimu ku misango Mujib gy’atwala mu FIFA kuliko ogwenguzi gy'agamba nti nnyingi mu FUFA n’anokolayo basiponsa ba Cranes n’aba liigi y’eggwanga FUFA beeyawulako, ng'ejongera y'ensangi zino bweri, ssente empitirivu.

Yayongeddeko nti Magogo azze amulwanyisa okuviira ddala mu 2009 bwe yamugaana okugula Nalubaale ng’agamba nti tekikirizibwa mu mateeka kyokka oluvannyuma kkooti n’esalawo eggoye nti Mujib ye mutuufu.

Ayongerako nti mu 2015, Magogo yakola kinene okuzzaayo Proline mu kibinja kya Big League, n’agattako n’okugaana okumuwa ebbaluwa emukkiriza okutunda abazannyi, kyokka FIFA n’emukakasa.

Wabula omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda, Yusuf Awuye yategeezezza nti tewali kyakoleddwa wabweru w’amateeka wabula Mujib yalemeddwa yekka. Okulonda kwa FUFA kwa kubeerawo nga August 5, e Masindi.

Gye buvuddeko, omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana yawaabidde Magogo FIFA ng'ayagala bamunoonyerezeeko ku ky’okutunda tiketi z’okulaba omupiira gwa World Cup ya 2014 e Brazil, ezaalina okuguzibwa Bannayuganda, n'azitunda mu Amerika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...

Basse owa S3 ne balagirira ...

ABATEMU babuzizzaawo omuwala owa S3 okuva mu maka ga bakadde be ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta, omulambo...

Luzinda

Desire Luzinda tatudde!

OMUYIMBI Desire Luzinda abamu gwe baakazaako erya ‘Kitone’ naye nno tatuula. Bwe yabadde agogera ku bulamu bwe...