TOP
  • Home
  • Mupiira
  • KCCA FC yeetaaga okuva mu kibinja ky'eza CAF

KCCA FC yeetaaga okuva mu kibinja ky'eza CAF

Added 3rd July 2017

EMIKISA gya KCCA FC okwesogga ‘quarter’ z’empaka za Total CAF Confederations gisigadde mu yo (KCCA) kufuna kabonero ku Club Africain gy’ebuzaayo mu kibinja A eky’empaka zino.

Mu Confederations Cup: kCCa 3-1 Fus Rabat

Eggulo, KCCA yawangudde FUS Rabat ggoolo 3-1 mu kisaawe e Lugogo n’Esigala n’emikisa egifuuka ttiimu ya Uganda esoose okwesogga ekibinja mu mpaka z’Afrika ate n’ekivaamu ne yeesogga ‘quarter’.

Obuwanguzi mu mupiira gw’eggulo, butegeeza nti KCCA yawezezza obubonero 9 era singa efuna akabonero mu mupiira ogusembayo (mu kibuga Tunis ekya Tunisia) gwe bagenda okuzannya ku Lwokutaano, yaakuweza obubonero 10 ate nga tewali waakusatu mu kibinja kino ajja kubuweza.

KCCA yabadde n’omukisa oguggya FUS Rabat mu kibalo ky’okuyitamu singa yagikubye ggoolo 4-0 kyokka ggoolo gye baagiteebye, yazzizza FUS Rabat mu kibalo.

Singa ttiimu zonna zenkanya obubonero, baakutunuulira bwe zaakola nga basisinkanye.

Eggulo, Rivers yattunse ne Club Africain e Nigeria nga buli omu yabadde yeetaaga buwanguzi okusigala n’essuubi eriyitamu. Ggoolo za KCCA zaateebeddwa Geoffrey Sserunkuuma (peneti), Sadam Juma ne Isaac Muleme.

KCCA eKibAlo yAKiKutte bubi: Abazannyi ba KCCA balinga abaayingidde ekisaawe ng’ekibalo ky’okuyitamu tebakimanyi. Olwateebye ggoolo essatu, ne baggyako ekigere ne bava ku by’okunoonya ggoolo endala.

Olw’okuba nga KCCA yakubwa ggoolo 3-0 ng’ekyalidde FUS Rabat e Morocco, batabani ba Mike Mutebi baabadde balina okuwangula ne ggoolo ezisinga ku ze baagikuba olwo bagiggye mu kibalo  ky’okuyitamu.

Mu kibinja kino, buli ttiimu ebadde ewangulira mwayo era singa kinaagenda bwe kityo, kitegeeza nti ggoolo z’oteebye ne ze bakuteebye ze zijja okusalawo aneesogga oluzannya
oluddako.

SADAM JUMA AYAKIDDEWO:

Omutindo Sadam Juma gwe yayolesezza mu mupiira gw’eggulo, gwalaze lwaki bulijjo omutendesi Mutebi amufiirako atandike okubazannyira.

Wadde nga yazannye nnamba (6) gy’atamanyidde, omutindo gwabadde musuffu nnyo kuba yafissizzaawo akadde akalumba n’ateeba ggoolo eyookubiri.

Sadam abadde takkirizibwa mu mateeka kuzannyira KCCA ng’akatale k’abazannyi tekannaggulawo mu butongole.

Mutebi yategeezezza nti wadde nga ttiimu ye ebadde tekola bulungi ng’ekyadde, alina essuubi nti akabonero ke beetaaga bajja kukafuna nga batuuse e Tunisia ku Lwokutaano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...

Basse owa S3 ne balagirira ...

ABATEMU babuzizzaawo omuwala owa S3 okuva mu maka ga bakadde be ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta, omulambo...

Luzinda

Desire Luzinda tatudde!

OMUYIMBI Desire Luzinda abamu gwe baakazaako erya ‘Kitone’ naye nno tatuula. Bwe yabadde agogera ku bulamu bwe...

Kenzo

KENZO: Ayambalidde abamulan...

BWE yatuuse ku bamuvuma olw’okusisinkana Pulezidenti Museveni n’okumulangira okulya ssente, Kenzo yakangudde ku...