TOP

Cheptegei amalidde mu kyakusatu e China

Added 7th July 2017

OMUDDUSI Joshua Cheptegei ebyamutuukako mu mpaka za World Cross Country e Kololo abisibye ku mpagi bwe yalaze nti mwetegefu okulwanirira omudaali mu mpaka z’ensi yonna eza IAAF World Championships ezinaayindira mu kibuga London omwezi ogujja.

BASAJJA MMITA 5000

1 Muktar EDRIS                 ETH        12:55.23                              

2 Selemon BAREGA         ETH        12:55.58                              

3 Joshua Kiprui CHEPTEGEI  UGA 12:59.83            

4 Yenew ALAMIREW       ETH        13:06.81 

Ng’ali mu mpaka za diamond league ku Lwokuna ekiro yakoze obudde obupya mu mmita 5000 nga yaziddukidde 12:59.83 okuva ku 13:00.60 gye yakola omwaka oguwedde mu Shanghai China.

Emisinde gyabadde gya kaasameeme okuva ku ntandikwa abaddusi 17 lwe baasimbuddwa nga Cheptegei omuyizi mu Ndejje Yunivasite yeekuumidde mu kibinja ekyabadde kikulembedde olwo n’abatwala okutuusa ku mmita 600 olusembayo Omuethiopia Muktar Edris ne munne Selemon Barega bwe baamuyiseeko n’amalira mu kyokusatu.

Baabadde mu mpaka za Atthletissima mu kibuga Lausanne ekya Switzerland era nga zino Cheptegei yazikozesezza okwepima foomu ye  nga yeetegekera ez’ensi yonna.

Nga nsalesale w’abaddusi okutuusa obudde obwetaagisa mu z’ensi yonna olwa July 23 lusembera, Uganda yaakaweza abaddusi 14 abasuubirwa okugikiikirira e London nga mu bano kuliko aba  Marathon: Robert Chemonges , Stephen Kiprotich , Alex Chesakit, Mutai Solomon, ne Jackson Kiprop 

Peruth Chemutai - 3000mSC

Chelengat Mercyline - 5000m

Chekwel Juliet  - 10,000m

Halima Nakaayi  - 800m

Joshua Cheptegei  - 10,000m

Toroitich Timothy - 10,000m

Araptany Jacob  - 3000mSC

Moses Kurong 10,000m

Ronald Musagala – 1500m

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...