TOP

Mukomye omuyoolerero mu Cranes

Added 9th July 2017

Ttiimu y’eggwanga tetegeka bazannyi, esanga bategeke n’eyongerezaako.

 Cranes eyakyalira Morocco mu 2014. Julius Ntambi (ku kkono), Richard Kasagga (ku ddyo) ne Yunus Sentamu (nnamba 9) baasuulibwa dda.

Cranes eyakyalira Morocco mu 2014. Julius Ntambi (ku kkono), Richard Kasagga (ku ddyo) ne Yunus Sentamu (nnamba 9) baasuulibwa dda.

WE natandikira okuzannya omupiira, ng’okufuna ttiimu kikutwalira ebbanga.

Kino tekiriiwo kati lwa nsonga abaddukanya omupiira tebamanyi kya kukola.

Wano mu Uganda, tetulina matendekero ga mupiira baana mwe bakulira okuggyako okumulaba ng’asamba amangu ago n’omutwala mu ttiimu oba n’ayitibwa mu Cranes.

Ffe kye tuvudde tuzannyira omupiira ebbanga eddene ekitakyaliwo kati.

Omupiira nagutandikira mu Pulayimale nga nnoonya ttiimu naye nga sifuna nga bangamba sinnatuuka.

Nanoonya ttiimu okumala emyaka ebiri nga ntendekebwa bulungi ku kyalo okutuusa bwe nneegatta ku Uganda American Insurance FC, ey’ekibinja ekyokusatu bwe yampa.

Nasambiramu omwaka gumu ne ngenda mu Co-operative FC kyokka tebampa layisinsi nga bagamba nkyali muto ne nsigala nga ntendekebwa.

Nabeerayo emyezi 4, Gomba Motors FC, ey’ekibinja ekyokubiri n’endaba n’empa layisinsi.

Nagisambira omwaka gumu Ebika ne bitandika mu 1987, ne nzannyira Olugave, aba Express ne Villa ne bankaayanira era nze muzannyi yekka mu Uganda eyassa omukono ku layisinsi ebbiri mu mwaka ogumu.

Baatwalanga ebbanga nga bakyatwetegereza omutindo oba gweyongeddeko ne balyoka bakuwa layisinsi.

Ennaku zino olulaba omuzannyi nga bamuweerawo layisinsi ku ttiimu enkulu ne ku Cranes!

Nze, Jackson Mayanja, Sam Ssimbwa, William Nkemba , Sadiq Wassa, Umar Senoga n’abalala bangi, twalwa ku mupiira (emyaka egisukka 10 ku Cranes) kuba twatuukirayo mu kiseera ekituufu.

Tewaali zino akademi ezibuzaabuza, ez’abaana b’abagagga bokka kuba omwana w’omwavu tayingirayo lwa nsonga ziva ku 50,000/- n’okwambuka.

Akademi zino ziriwo kusala mbuto za baana ba bagagga sso si kuvumbula bitone na kubayigiriza mupiira.

Bw’odda ku bukiiko obw’ekikugu obwa FUFA y’ennaku zino, gujabagira kubanga bayita abaana ab’ekibogwe mu Cranes, ne basuulibwa kuba tebategekeddwa bulungi.

Ttiimu y’eggwanga tetegeka bazannyi, esanga bategeke n’eyongerezaako.

Obukiiko bukoze kinene okulinnyisa omuwendo gw’abaagusambako (Ex- Internationals) era Uganda y’esinga ba Ex-Internationals abali wakati w’emyaka 20-28 kubanga bayitibwa tebanneetuuka, ne basuulibwa, ne bafuuka ba Ex-Internationals ku myaka emito. Okugeza Said Kyeyune, Julius Ntambi, Brian Nkuubi n’abalala.

Kati mu Uganda kizibu nnyo okufuna kapiteeni alinga nze, eyakwata ekikomo kya Express ne Cranes okumala emyaka 10!

Ennaku zino akirwako ennyo akikwatira emyaka ena!

Ssimwogerere

 

Mu 2003, natwala Serunkuuma mu Masaka LC naye kati Cranes ne KCCA kwe ziyimiridde ekiraga nti yaweebwa obudde obumala.

Singa yali wa mulembe guno yandibadde yasuulibwa dda. Bwe tutaddeyo kutegeka bazannyi na kubawa budde, kijja kutwala ebbanga okumenya likodi ze twakola. 

georgesimlala@gmail.com
0702129092

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...