TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Micho asazeeko 6 n'alonda Serunkuuma ku bwakapiteeni

Micho asazeeko 6 n'alonda Serunkuuma ku bwakapiteeni

Added 10th July 2017

OMUTENDESI wa Cranes Micho Sredojevich asudde abazannyi mukaaga b'agamba nti baayoleseza omutindo ogw’ekibogwe ku Lwomukaaga nga bakubwa ttiimu ennonderere okuva mu bitundu by’obuvanjuba bwa Uganda.

 Micho asazeeko 6, nalonda Geofrey Serunkuuma ku bwa kapiteen y'abaguzanniyra awaka

Micho asazeeko 6, nalonda Geofrey Serunkuuma ku bwa kapiteen y'abaguzanniyra awaka

Abazannyi  Simon Serunkuuma, Rashid Toha, Julius Malingumu, Solomon Okwalinga, Bassey Methodius ne Lawrence Bukenya.

Bano basikiziddwa abazannyi ba KCCA FC; Muzamir Mutyaba, Isaac Muleme, Simon Serunkuuma, Derrick Nsibambi, Paul Mucureezi, Paul Musamali ne Timothy Awanyi abatazannye mupiira gw’e Kabale olw’okubeera ne kirabu yabwe e Tunisia gye yakubiddwa Club Africain newanduka mu mpaka za CAF Confederations cup

Olwaleero ttiimu y’abaguzannyira awaka etandise okutendekebwa mu butongole okwetegekera omupiira ogusooka ku Lwomukaaga gw’ekyalira South Sudan e Juba ku luzannya olw’okubiri mu z’okusunsulamu z’empaka za CHAN 2018 ezigenda okubeera e Kenya. Bakuddingana wiikendi ejja era ng’omuwanguzi wakuzannya anawangula wakati wa Tanzania ne Rwanda.

Mu ngeri yemu Micho era yalonze omuteebi Geofrey Serunkuuma ku bwa kapiteeni bwa ttiimu ya CHAN ono ng’agenda kumyukibwa abazibizi Nicholas Wadada ne Bernard Muwanga.

Abazannyi Micho baayise

Abakwasi ba ggoolo;Ismail Watenga, Tom Ikara Tom ne Keni Saidi.

Abalala kuliko;Nicholas Wadada, Timothy Awanyi, Bernard Muwanga, Savio Kabugo, Rashid Toha, Paul  Musamali, John Adiriko, Deus Bukenya, Nicholas Kasozi, Muzamir Mutyaba, Tom Matsiko, Moses Waiswa, Paul Mucurezi, Isaac Muleme, Martin Kizza, Brian Majwega, Shafiq Kagimu, Geofrey Serunkuuma (Kapiteeni), Derrick Nsibambi, Nelson Sekantuka, Shaban Mohamed ne Milton Karisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....