TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Rugby Cranes ekubiddwa Namibia mu za Golden Cup

Rugby Cranes ekubiddwa Namibia mu za Golden Cup

Added 23rd July 2017

Uganda ekubiddwa omulundi ogusooka mu mpaka z’ekikopo kya Rugby Golden Cup ekizannyiwa amawanga ga Africa mukaaga.

 Abazannyi ba Namibia (ku ddyo) nga batangira aba Uganda  e Lugogo mu mpaka za World Cup. Namibia yawangudde ku bubonero 48-24 July 22 2017.(ekif:Silvano Kibuuka)

Abazannyi ba Namibia (ku ddyo) nga batangira aba Uganda e Lugogo mu mpaka za World Cup. Namibia yawangudde ku bubonero 48-24 July 22 2017.(ekif:Silvano Kibuuka)

Rugby World Cup:

Uganda 24 Namibia 48

Uganda ekubiddwa omulundi ogusooka mu mpaka z’ekikopo kya Rugby Golden Cup ekizannyiwa amawanga ga Africa mukaaga.

Namibia ye yakubidde Uganda omwayo ku kisaawe kya Legends e Lugogo mu mpaka ze banoonyezaamu abaneetaba mu mpaka z’ensi yonna ez’ebibinja omunaasunsulirwa abanaazannya World Cup ya 2018 e Japan.

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga ye yabadde omugenyi omukulu ku muzannyo guno.

Wadde nga Uganda ye yasoose okuteeba ng’eyita mu muzannyi Asuman Mugerwa, abagenyi baalaze nti ng'oggyeeko South Africa, teri abawunyamu mu Afrika era we baakyukidde nga bakulembedde ku bubonero 22 – 10.

Uganda yasooka kulemegana ne Kenya nga kwe yazza okuwangulira Senegal omwayo ate n’ekubira aba Tunisia e Lugogo.

Namibia y’ekulembedde nga tennawangulwamu mu mipiira so nga nga Zimbabwe yaakubiri ate Uganda eri mu kyakusatu.

Uganda ezzaako Zimbabwe nga August 10 2017 e Lugogo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...